Amawulire

Ab'esimbyewo okukiikirira Ntebe buli omu awera kumegga banne

OLUVANYUMA lwo kwewandiisa nakakiiko ke byokulonda okuvuganya kukifo Kya MP mu kibuga kye Ntebe ,  abakulembeze abasuka mu 5 bavudeyo okuvuganya kukifo kino

Omubaka we Ntebe Micheal Kakembo Mbwatekamwa okuva mu kibiina kya DF nga ali ne Alien Skin mukunoonya akalulu e Kigungu mukibuga kye Nteb
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

OLUVANYUMA lwo kwewandiisa nakakiiko ke byokulonda okuvuganya kukifo Kya MP mu kibuga kye Ntebe ,  abakulembeze abasuka mu 5 bavudeyo okuvuganya kukifo kino .

ABANTU 5 beebaakakasibwa okuvuganya ku kifo ky'omubaka we Ntebe okuli Shayka Stephen Gashaija owa NRM, Michael Kakembo Mbwatekamwa, wa Democratic Front, Najjemba Scholastic owa  independent, Kayanja Vicente owa DP,Nabatta Namuli Joyce  mu NUP nga bano baatandise okuwenja akalulu mu bitundu by'e Ntebe.

Joyce Namuli Nabatte okuva mu kibiina kya NUP nga atambula anoonya akalulu ku kyalo kye Lunyo Central e Ntebe

Joyce Namuli Nabatte okuva mu kibiina kya NUP nga atambula anoonya akalulu ku kyalo kye Lunyo Central e Ntebe

Omubaka we Ntebe Micheal Kakembo Mbwatekamwa nga ono akomyewo okuvuganya ku card ya DF asinzidde Kigungu n'asaba abawagizi obululu n'abasuubiza  okubawereza ekisanja kimu kyoka agende olwo abalala bakwatemu.     

Ono asembyeyo nga asubiza abalonzi nti singa bamuzzaayo ayagala okumaliriza ensonga y'okuzimba olutindo olugatta ekibuga kye Ntebe Ku Buwaya kwosa n'okuzimba essomero e Kigungu liyite Seed school era nti Amagye gabawadde yiika y'ettaka.

Ate ye Nabatta Namuli Joyce okuva mu kibiina Kya NUP asinzidde mu bitundu bya Lunyo Central nga atambula atuuka ku buli mulonzi nga abakuyega okumulonda asobole okubawereza ku kifo Kya MP we Ntebe .

Omubaka we Ntebe Micheal Kakembo Mbwatekamwa nga alinze okwogerako n'abalonzi e Kigungu

Omubaka we Ntebe Micheal Kakembo Mbwatekamwa nga alinze okwogerako n'abalonzi e Kigungu

Ono ategeezeeza nti ayagala okuteeseza abantu be Ntebe basobole okufuna enguudo ennungi kubanga nyingi ziri mumbeera mbi nnyo nti omuntu ava ewaka nga atukula natuuka ku mulimu nga avulubanye enfuufu oba ebisooto .

Ono agambye nti abantu bangi tebalina bwogerero ng'ebibaluma bingi okuli emisolo eminji, ebbula lye Dagala mu malwaliro n'ebirala . wano wasinzidde n'asaba abantu okumulonda kwosa n'okulonda abantu bonna aba NUP okuli nomukulembeza we Kibiina kino Robert Kyagulanyi Sentamu .

Assembyeyo nga avumirira ensonga ya bakuuma ddembe okubanyigiriza ne babalemesa okunoonya akalulu kyagambye nti kikyamu nnyo .

Tags: