ABAGOBA ba bodaboda ensobi ze bakola mu bugenderevu ezisobola okuvaako obubenje ku nguudo ez’enjawulo n'ekiviirako abantu okufuna ebisago eby'olubeerera n'okufiirwa obulamu.

Owa Boda Boda ng'attise Ebyuma Ebiwanvu Ebiyinza Okuvaako Akabenje e Mpererwe mu munisipaali y'e Kawempe.
Bano bangi ensangi zino batikka kabindo nga n’ebintu ebimu ebyanditeekeddwa ku mmotoka bo babyetikka ku ppiki zaabwe era abamu bazze bakola obubenje ku nguudo ez’enjawulo.

Ono Yasangiddwa Ku Luguudo Lw'e Luweero Ng'atisse Ebitereke N'omusaabaze

Yabadde aweese amagi n'omusaabaze ku lw'e Ssemuto.

Abantu abakulu 5 ku bbooda emu! eeeh!1