EKIBUGA kimaze ennaku 42 nga kiri ku muggalo olw’ekirwadde kya Corona era omukulembeze w’eggwanga yaakavaayo ennaku ssatu emabega okuggulawo n’alagira abantu okugoberera amateeka ga minisitule y’ebyobulamu agatangira okusaasaana kwa Corona naddala okwambala masiki.

Ono ddereeva wa ttakisi tayagala kumanya
Ku bantu e 100 b’osanga 10, be bambadde masiki, ate 80 bazirina kyokka bazifudde midaali gya mu bulago oba ky’oyinza okuyita okuzisiba bbaalansi ekiyinza okukuloowoozesa nti si kye kyabadde ekiseera ekituufu abantu bano okuggyibwa ku muggalo.

Ono yabadde yeetambulira 'nagalaaliyasire' nga tafaayo
Waliwo abaserikale abali mu ngoye eza bulijjo abeetisse omugugu okujjukiza abantu okwambala masiki kyokka nabo babawereekereza ebisongovu.Ekyewuunyisa wadde abakyala bamanyiddwa mu kugondera amateeka naye ate ku luno be basinga okusiba masiki bbaalansi ekiraga nti batya okusangula lipusitiiki waabwe ku mimwa okusinga okufa ku kirwadde kya Corona.

'Yambala masiki yo mangu teweekoza' , omuserikale bwe yalabise ng'agamba omukazi eyabadde atadde masiki mu bulago


Bano baabadde banyumya nga tebeefiirayo




Bano ababbooda bo tebaagala kumanya

Ono essimu gy'akuba ndowooza emusingira obulamu

'Aaaaaaaaah naawe nze ndeka'





