Famire y’omugenzi Ssekiboobo w’essaza Kyaggwe etangaazizza ku bizze birabikira ku Social media ng'abantu ab’enjawulo boogera ebitakwatagana nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwe baamulemesezza okwogera bwe yabadde ku mukolo ogw’okutuuza omusika w’eyali Ssekiboobo ku Lwomukaaga ku kyalo Neekooyedde e Nakifuma.