Ssabalabirizi Kaziimba Mugalu asabye Gavumenti okwongera okunoonyereza ku bantu abazze babuzibwaweo

31st March 2021

Bya Jaliat NamuwayaSsabalabirizi w'ekanisa ya Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu asabye gavumenti eyongere amaanyi mukunoonyereza okuzuula abantu abaze babuzibwawo abatanadizibwa eriffamire zaabwe .Okusaba kuno ssabalabirizi akukoze bwabadde awa obubaka bwe obwamazukira eri eggwanga amakya galeero ku kkanisa ya All Saints e Nakasero .Agenze maaso n'okuvumirira ebikolwa eby'abenganda okuli bakojja neba taata okukabasanya nga abaana bebazaala nga wano wasinzide nasaba gavumenti okuddamu okukkiriza abaana abato okudda kumasinzizo okusaba wakiri omulundi gumu buli wiiki okusinga okubakumira ewaka gyebongede okutusibwako obulabe .Mungeri yeemu ssabalabirizi ategeezeza nti olw'okwongera okw'ekuma ekirwadde kya covid19 ekubbo ly'omusalaba kumulundi guno ligenda kutambuzibwa mungeri yakinasayansi nga era omukolo gugenda kwetabwako abantu balubattu ddala kuluttiko e Namirembe .Akubiriza abakkiriza kulunaku olwo olwa 'Good Friday 'okugoberera ebinabeera bigenda mu maaso nga basinzira kumikuttu gya ttivvi.

PREMIUM Bukedde

Ssabalabirizi Kaziimba Mugalu asabye Gavumenti okwongera okunoonyereza ku bantu abazze babuzibwaweo
NewVision Reporter
@NewVision

Bya Jaliat Namuwaya
Ssabalabirizi w'ekanisa ya Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu asabye gavumenti eyongere amaanyi mukunoonyereza okuzuula abantu abaze babuzibwawo abatanadizibwa eriffamire zaabwe .
Okusaba kuno ssabalabirizi akukoze bwabadde awa obubaka bwe obwamazukira 

This is a premium article please Subscribe