Tottenham Hotspurs eri ku muyiggo gwa ggoolokipa anaasikira Hugo Lloris agambibwa nti agikooye.Lloris, kapiteeni wa ttiimu eno (Spurs), kigambibwa nti ategeka kudda ku butaka mu Bufalansa amangu ddala nga sizoni eno eweddeko era kiteeberezebwa nti PSG mw’ayinza okudda.Ensonga ekyagaanyi Lloris okuzza obuggya endagaano tezimanyiddwa kyokka waliwo abasonze ku kya Spurs okulemwa okuwangula ebikopo. Lloris ye yaduumira Bufalansa n’ewangula World Cup gye yategeka mu 2018.Baggoolokipa 3 enzaalwa z’e Bungereza, Spurs etandise okubatokota okusikira Lloris. Bano kuliko Dean Henderson (ManU), Nick Pope (Burnley) ne Sam Johnstone owa West Brom. Bonsatule bali mu ttiimu eyayitiddwa omutendesi Gareth Southgate okwetegekera San Marino, Albania ne Poland mu gisunsula abalyetaba mu World Cup ya 2022 e Qatar.Ku bonsatule, Spurs esinga kwagala Henderson.
PREMIUMBukedde
Spurs eri ku muyiggo gwa Goal keeper
NewVision Reporter
@NewVision
Tottenham Hotspurs eri ku muyiggo gwa ggoolokipa anaasikira Hugo Lloris agambibwa nti agikooye.