Pastor Mayambala awadde omukulu w'ekika ky'effumbe enkoko awuutemu ssupu

Pr. Evans Mayambala ow'ekanisa eyitibwa  Let There Be Healing Church e Kiwatule yaleetedde Jjajjawe Omukulu w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Walusimbi enkoko awuutemu ssupu. Baabadde ku butaka bw'ekika ky'effumbe obusangibwa ku lusozi Bakka mu ggombolola y'e Mmende mu disitulikiti y'e Wakiso mu ssaza ly'e Busiro.Gwabadde mukolo olukiiko olukulembeze oluggya olw'ekika kwerwalayiridde nga March 13,2021 nga Pr. Mayambala yawereddwa obuvunanyizibwa bw'okumyuka avunanyizibwa ku by'ensimbi n'enkulakulana y'ekika ,ekifo kyeyasanyukidde ennyo.Pr.Mayambala yasabye essaala nti abo abatayagala kuwagira mirimu gya kika nga batoola ssente okukola emirimu gy’enkulakulana,Katonda asaanye abatwale kuba tebalina kyebakigasa.Pr.Mayambala nga mukulu w’omusambi w’ensambaggere Moses Golola yategezezza balokole banne nti mu bika teriiyo sitaani yenna nga kirungi nabo beenyigire mu kubizimba.Omutaka Walusimbi yakubiriza bazzukkulu be bonna okubeera n’omutima ogwagala okukulakulanya ekika kyaabwe kuba teri agenda kukola mulimu guno.

PREMIUM Bukedde

Pastor Mayambala awadde omukulu w'ekika ky'effumbe enkoko awuutemu ssupu
NewVision Reporter
@NewVision

Pr. Evans Mayambala ow'ekanisa eyitibwa  Let There Be Healing Church e Kiwatule yaleetedde Jjajjawe Omukulu w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Walusimbi enkoko awuutemu ssupu. Baabadde ku butaka bw'ekika