Omuvubuka attiddwa n'omulambo gwe ne bagukumako omuliro e Lwengo

ABANTU ab'ettima Basse omuvubuka omulambo gwe ne baguteekera omuliro ne nnyumba ye ne bibengeya.   Ekikangabwa kigudde ku kyalo Kirumba mu tawuni kanso ye Kyazanga mu disitulikiti eye Lwengo. Attiddwa ategerekeseeko erya Moses ng'atemeza mu myaka 28 nga kigambibwa nti abaamuse bandiba nga bategedde nti alina ku nsimbi. Kigambibwa nti omugenzi abadde yakagula ekibanja ku kyalo kino kwabadde asimbye olusuku era nga abadde ali muntekateeka z'okuzimbako amaka amanene ave mu nnyumba entono. Omugenzi abadde muwooza w'omusolo gw'ebidduka okuli emmotoka ne pikipiki mu bitundu bye Masaka.    Ssentebe w'ekyalo John Bosco Ssegawa ategeezeza nga omugenzi bwabadde omukozi wabula ettemu nalisa ku bavubuka abataagala kukola.    Oluvannyuma poliisi ye Kyazanga ng' ekulembeddwamu akukira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango Mathias Mulumba akakasiza nga omugenzi bwe yettiddwa buttibwa era bazudde obumu ku bujjulizi obulaga nti omugenzi yelwanyeeko wabula abattemu ne bamusinga amanyi olw'ebisago ebisangiddwa  mulambo nasaba abatuuze okukolera awamu ne poliisi bazuule abattemu abaamuse.

PREMIUM Bukedde

Omuvubuka attiddwa n'omulambo gwe ne bagukumako omuliro e Lwengo
NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU ab'ettima Basse omuvubuka omulambo gwe ne baguteekera omuliro ne nnyumba ye ne bibengeya.
   Ekikangabwa kigudde ku kyalo Kirumba mu tawuni kanso ye Kyazanga mu disitulikiti eye Lwengo.
 Attiddwa ategerekeseeko erya

Login to begin your journey to our premium content