Omusumba Ssemogerere awabudde ku batema ebibira

Apr 23, 2021

Omusumba Paul Ssemogerere alabirira essaza lya Kampala ng’ate ye wa Kasana Luweero awabudde abantu abatema emiti n’agamba nti kikyamu ennyo eri eggwanga.

Omusumba Ssemogerere awabudde ku batema ebibira

Juliet Anna Lukwago
Journalist @New Vision

Yagambye nti ekyeya kitawaanya nnyo ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli ne Luweero gyakolera, naye nga kyonna kiva mu kutema ebibira n’emiti n’asaba abantu okukikomya.

 Bino Ssemogerere yabyogedde oluvannyuma lw’ekitambiro kya mmisa kye yakulembeddemu ku kiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo ku Lwokuna abasosorodooti b’ekibiina kya Franscian Friar okuva e Poland bwe baabadde bajaguza emyaka 20 nga baweereza mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.   

Omusumba Ssemogerere yagambye nti ekizibu ekiriwo ky’abantu okutema emiti. Yasabye Bannayuganda okulabira ku basosorodooti bano abeewaayo okusimba emiti buli we babeera. Yawadde eky’okulabirako ky’e Munyonyo ekifo ky’agamba nti kirabika bulungi olw’emiti egy’enjawulo egiri mu kifo kino.

Ssemogerere yatenderezza Ssaabasumba Lwanga eyayita abasosorodooti bano mu ssaza lya Kasana-Luweero e (Kakoge) ne Matugga ne Munyonyo mu Kampala Archdiocese olw’okulengerera ewala olw’enkulaakulana ennungi buli we bakoledde, okulangirira ekigambo kya Katonda n’okuyamba abantu mu bintu eby’enjawulo.  

Ye Fr. Dr. Marion Golab gwe baakazaako erya Kakubi ng’ono ye yasooka okukulira ekiggwa kino kati yaddayo e Poland era yakulira banne bonna abakolera mu Africa, yagambye  nti byonna bye batuseeko bye bimu ku bibaala bya Ssaabasumba Lwanga eyabawa omukisa okukolera mu ssaza lya Kasana-Luweero ne Kampala era bulijjo tubadde tumuyita ‘God Father’. 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});