AKULIRA ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyu Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine alonze Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba okukulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti eya 11. Mpuuga ye mu myuka w'akulira NUP mu Buganda Region era nga ye mubaka omulonde owa Nyendo Mukungwe e Masaka.