Nnamwandu asinzizza amaanyi abooluganda lwa Kasango, waakuzikwa Fort portal

2nd March 2021

Ffamire ya Bob Kasango, eyafiiridde mu kkomera e Luzira, baatuuzizza enkiiko eziwerako nga balemeddwa okukkaanya waaba aziikibwa.

Nnamwandu asinzizza amaanyi abooluganda lwa Kasango, waakuzikwa Fort portal
NewVision Reporter
@NewVision

Ffamire ya Bob Kasango, eyafiiridde mu kkomera e Luzira, baatuuzizza enkiiko eziwerako nga balemeddwa okukkaanya waaba aziikibwa.

Bazadde be baabadde baagala bamutwale ku butaka gy’azaalibwa mu disitulikiti y’e Tororo, ate mukyala we, Nice Bitarabeho Kasango,  ne mutabani we omukulu Samora Kasango, ne bakalambira nti alina kuziikibwa mu bitundu by’e Fortportal, gy’alina ffaamu.

Omugenzi Bob Kasango

Omugenzi Bob Kasango

Omu ku wooluganda lwa Kasango, ayitibwa Sebastian Orach, yategeezezza nti engeri omugenzi gy’ataalese kiraamo ate nga mukazi we gw’abadde naye wa mpeta, ne mutabani we nga aweza emyaka 18, wadde nga bandyagadde okumutwala gy’azaalibwa, baasazeewo okugenda ne kyasaliddwawo nnamwandu n’abaana aziikibwe e Fortportal.

Margaret Muhanga, omubaka akiikirira Abakyala mu disitulikiti y’e Kabarole, yategeezezza nti omugenzi yafuuka wa ffamire yaabwe era nga basooka kumumanyira ku muganda waabwe, Beth Muhanga, gwe baasomanga naye e Tororo, oluvannyuma n’akwatagana ne mwannyinaabwe Andrew Mwenda ku yunivaasite e Makerere okuva mu mwaka gwa 1993-1997.

Amaka G'omugenzi Kasango Agasangibwa E Butabika.

Amaka G'omugenzi Kasango Agasangibwa E Butabika.

“Kibi nnyo nti twagezaako okusaba kkooti emuyimbule ku kakalu kaayo tusobole okumutwala mu ddwaaliro emitala wa mayanja kyokka ne bagaana okutukkiriza,” Muhanga bwe yategeezezza.

 NNAMWANDU AYOGEDDE:

Nice Bitarabeho Kasango, yagambye nti yasisinkana Kasango mu 1999 era nga ekyasinga okumusikiriza okumwagala kwekuba nti yali musajja ayagala Katonda, omukkakkamu, ayamba abali mu bwetaavu, ffamire ye, eranga  mukozi.

Wabula ono agamba nti wadde nga alumiddwa byansusso olw’okufa kwa bba, musanyufu nti awonye obulumi obungi bw’abadde ayitamu ng’ali mu kkomera e Luzira.

“Baze yatuuka n’okufuuyisa omusaayi olw’obulwadde bw’omutima naye ekyewuunyisa nti abasawo b’e Luzira baakola lipoota ng’eraga nti embeera gy’abaddemu ebadde teyeeraliikiriza era kkooti n’esinziira okwo okugaana okumuta ku kakalu kaayo wadde ng’abakugu ku ddwaaliro ly’emitima e Mulago, Kampala Hospital, Nakasero, The Clinic, Case Clinic, n’amalwaliro amalala lipoota zaabwe zaali ziraga bulungi nti baze yali yeetaaga obujjanjabi obw’enjawulo,” nnamwandu bwe yategeezezza.

Omugenzi yalese nnamwandu n’abaana basatu okuli; Samora Kasango,19, Stephie Kasango, 17, ne Evanna Kasango,13.

Omugenzi bamusabidde mu kkanisa ya All Saints e Nakasero, ku ssaawa 4:00 ate enkya ku Lwokusatu aziikibwe e Fortportal.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.