Munnamagye eyasaba ekibira kya Gavumenti okusimba emiti basanzeemu njaga!

Munnamagye eyapangisa ekibira kya gavumenti okusimba emiti awunikirizza abakulembeze be Mpigi bwebasanze nga yakimbamu njaga nokulundiramu embuzi.Abakulembeze ba disitulikiti ye Mpigi nga bakulembeddwamu avunanyizibwa ku butonde bwensi Esther Nampeera bawuniikiridde bwebalambudde ekibira kya Mpondwe forest reserve ekisangibwa e Kammengo mu Mpigi ne basanga nga eyakipangisa okusimba emiti okukuuma obutonde bwensi, yasimbamu njaga , bitooke n'okulundiramu embuzi.Abakulembeze bano abatuula ku lukiiko lwebikolebwa mu disitulikiti olukulembeddwamu kansala Joseph Kasule Mugatte bategezezza nti ekibira kino kyagobwamu abatuuze abaali balimiramu emmere ne kiweebwa munnamagye Maj Moses Musinguzi n'ekigendererwa kyokuzaawo emiti kyokka naye naakola kyekimu nga alimiramu olusuku, okusimbamu enyumba ezobuwangaazi nokusimba enjaga.Akulira eby'obutonde bwensi mu Mpigi Esther Nampeera ategezezza nti bakusisinkana ekitongole kyebibira ekya NFA okwekeneenya endagaano gyebakola ne Musinguzi okuzuula byebakaanyako era bwaba nga teyaweebwa lukusa kulima bintu bimenya mateeka mu kibira avunaanibwe.Maj Musinguzi abyokulima enjaga mu kibira abyegaanye nategeza nti batuuze bebajirimiramu mu bubba wabula nakkirizza nti alimiramu mmere yabakozi be nokubazimbira enyumba mwebasula.

PREMIUM Bukedde

Munnamagye eyasaba ekibira kya Gavumenti okusimba emiti basanzeemu njaga!
NewVision Reporter
@NewVision

Munnamagye eyapangisa ekibira kya gavumenti okusimba emiti awunikirizza abakulembeze be Mpigi bwebasanze nga yakimbamu njaga nokulundiramu embuzi.

Abakulembeze ba disitulikiti ye Mpigi nga bakulembeddwamu avunanyizibwa ku butonde

Login to begin your journey to our premium content