MMENGO esabye gavumenti eyawakati okugiddiza ebibira Obwakabaka busobole okubikuuma mu kaweefube w'okukuuma n'okutaasa obutonde bwensi gwebuliko.Okusaba kuno kukoleddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bw'okuggalawo wiiki y'Obutonde mu Buganda nga buno butuusiddwa Omumyuka we asooka era Minisita wa tekinologiya n'obuyiiya, Polof. Twaha Kaawaase Kigongo n'avumirira n'omuze gw'okusanyaawo ebibira.