MINISTA omubeezi owa Gavumenti ez'ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Joseph Kawuki amalirizza okulambula abantu ba Kabaka ababeera mu bitundu by'Obukama bwe Tooro.
Kawuki yatambudde n'Omukungu mu ofiisi y'ensonga z'Abaganda ebweru wa Buganda, Peter Zaake.
Yatuuse eno olunaku lw'eggulo n'asisinkana abantu ba Kabaka mu kitundu kino mu kifo ekiyitibwa Raca Resort Hotel mu kibuga Fortportal era n'abakubiriza okuwa ekitiibwa obuwangwa bw'abantu gye babeera kyokka nga banyweredde ku buwangwa bwa Buganda.
Ali Mu Kkanzu Ku Kkono Ye Minisita Kawuki. Oyo Amwanjulira Abantu Ye Ssempeebwa Akulira Ekibiina Kya Kabawa.
Yabasabye naddala abo abali mu kibiina ekibagatta ekya Kabalore Baganda Workers Association (KABAWA), nakyo kye yatongozza nga kikulemberwa Samuel Ssempeebwa, okukulembezanga obweruufu kubanga ye nnamuziga y'okuleetawo enkyukakyuka mu nkulaakulana y'abantu n'ebitundu wamu n'ensi.
Minisita Kawuki ku Ssande yakedde kwetaba mu mmisa y'okunyeenya amatabi mu Mountain of Snows Vilcar Cathedral e Fortportal nga yakulembeddwaamu Fr. Titus Winyi n'asinziira wano n'abakubiriza okuba obumu ng'Abaganda n'Abatooro.
Abantu beebazizza nnyo Gavumenti ya Kabaka olw'okubalowoozaako n'abakyalira.