Kaliisoliiso wa Gavumenti asabye abantu baabulijjo okulwanyisa enguzi

Bya Ssennabulya Bagalaayina ABANTU abatonotono okuva mu greater Masaka bakung'anye okubangulwa mu bukoddyo bw'okulwanyisa omuze gw'obukenuzi mu ggwanga n'abakwenyigiramu.Omusomo ogw'ennaku bbiri oguli mu Maria Flo Hotel mu kibugà Masaka gutekeddwa Ofiisi ya Kaliisoliisowa Gavumenti mu kiseera kino eddukanyizibwa Mariam Wangadya. Mu Masaka bakolaganye n'abekitongole ky'obwannakyewa aba Uganda Eyenkya abakulirwa Henry Paul Muyingo. Abasomesa mu ofiisi ya Kaliisoliiso bakuliddwa Gerald Gwaira, Christine Iga,Mika Luteete ne Mary Mable Nakajoba Ssebaggala. Essira balitambulizza ku mulamwa nti abatuuze bwe bayiinza okuyambako mu kulwanyisa enguzi mu ggwanga. Bategeezeddwa nti enguzi nsigo esigibwa buli munnansi okutandikira kw'agigaba n'agigaba ng'olutalo lw'okugirwanyisa lulina kwrenyigirwamu buli omu. Muyingo owa Uganda Eyenkya alambuludde nti ebigendereddwa mu musomo guno kwe kulaba ng'enguzi erwanyisibwa mu Greater Masaka.

PREMIUM Bukedde

Kaliisoliiso wa Gavumenti asabye abantu baabulijjo okulwanyisa enguzi
By NewVision Reporter
Journalists @NewVision
ABANTU abatonotono okuva mu greater Masaka bakung'anye okubangulwa mu bukoddyo bw'okulwanyisa omuze gw'obukenuzi mu ggwanga n'abakwenyigiramu.

Login to begin your journey to our premium content