BOOFI ISA ABAAMUSIBA BASATTIRA
GENERO omupya eyalondeddwa okudda mu bigere bya Sabiiti Muzeyi aleese akasattiro mu poliisi era abaserikale abamu bali ku bunkenke.
Akasattiro kano kazingiramu ne boofi isa abaakola ekikwekweto mu May w’omwaka guno ne bakwata Maj. Gen. Paul Loketch ne bamukuumira ku poliisi ya CPS mu Kampala okumala essaawa eziwerako.
Mu nkyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti Museveni ku Lwokusatu, yalonze Loketch okudda mu kifo kya Maj. Gen. Sabiiti eky’omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, ng’amyuka Martin Okoth Ochola.
Amyuka omwogezi wa UPDF, yagambye nti, Lokech alindiridde kukakasibwa akakiiko ka palamenti akasunsula abakozi ba Gavumenti aba waggulu, olwo alyoke atandike emirimu mu butongole.
Ku Lwokusatu nga May 27, 2020, Maj. Gen. Loketch yafuna obutakkaanya n’abaserikale ba poliisi y’oku nguudo era okukkakkana ng’atwaliddwa ku poliisi
ya CPS mu Kampala.
Loketch yali ku luguudo lw’e Namugongo era abapoliisi baaliwo bangi ku luguudo olwo okuteeka ebiragiro bya gavumenti mu nkola omwali eby’entambula y’ebidduka ne ku kafi yu.
Abapoliisi baali baduumirwa akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala East, ASP Ruth Kyobutungyi.
Abaaliwo bagamba nti Kyobutungyi n’abaserikale abalala be yali akulembeddemu, baayimiriza emmotoka ya Loketch. Kyokka baali tebamutegedde kuba emmotoka
mwe yali atambulira yali ya bulijjo, ng’eriko nnamba za bulijjo ate nga n’obudde
butandise okukwata.
Cp. Kafeero
Ekiseera ekyo Pulezidenti Museveni yali yaakamala okukkiriza emmotoka z’obwannannyini okuddamu okutambula nga May 26, 2020 era akalippagano nga ka maanyi ebiseera ebyo.
Loketch bwe yagwa mu kalippagano n’agezaako okubalaamiriza ng’ayita ebbali wa layini okumpi ne Agenda 2000 era awo abaserikale abaali baduumirwa Kyobutungyi ne bamuyimiriza.
“Baamubuuza akana n’akataano kyokka olw’okuba yali mu ngoye za bulijjo tebaamutegeera era we yatuukira okubannyonnyola ebimukwatako, ng’amaloboozi gatandise okukaalaamuka.” Omu ku baaliwo bwe yategeezezza Bukedde.
Yagasseeko nti Loketch yagezaako okunnyonnyola lwaki yalina okutetenkanya ayitewo olw’emirimu emitongole gye yali agendako, wabula nga tekikyayamba kubanga abapoliisi baali bamaze okuva mu mbeera nga bagamba nti Genero yali abayisizzaamu amaaso era Kyobutungyi n’alumiriza nti Genero yali amuggyiddeyo n’emmundu.
Kyobutungyi nti yasika ebisumuluzo mu mmotoka ya Genero ekyanyiiza Loketch era yagezaako okubimusaba asobole okweyongerayo, wabula Kyobutungyi nti ne yeerema.
Ensonga zaawanvuwa era ne bakubira omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, CP Moses Kafeero n’ajja bukubiririre okugonjoola ensonga.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeeza bannamawulire nti, Maj. Gen. Loketch yali akwatiddwa wabula akasango kaali
katono era CP Kafeero nti yali atuuzizza enjuyi zombi okulaba
nga batuuka ku nzikiriziganya.
Ensonda zigamba nti, Kafeero bwe yagenda ku lw’e Namugongo okulaba ogubadde, yateeka Kyobutungyi mu mmotoka n’amuggyako n’ebisumuluzo bya Loketch n’asaba Loketch atuule mu mmotoka yeemu (eya Kafeero) ne bagenda ku CPS balabe bwe bamaliriza ensonga.
Kyobutungyi nti yali alemeddeko ng’ayagala aggulewo omusango ng’avunaana Genero
okumukuba n’omusango omulala ogw’okuvugisa ekimama; wabula Kafeero nti n’amukkakkanya era oluvannyuma Loketch ne bamuddiza ebisumuluzo, n’afuna
emmotoka endala eyamuzzaayo e Namugongo we yali alese emmotoka ye.
Onyango bwe yatuukiriddwa ku ngeri ensonga zino gye zaakomekerezebwa
yagaanyi okuzoogerako ng’agamba nti zisiikuula ebintu ebyaggwa edda.
Ensonda zaategeezezza nti akasattiro ka maanyi naddala ku buli mupoliisi eyaliko mu nsonga eyo, nga n’abamu balina okutya ku ngeri mukama waabwe omupya bw’anaabakwatamu olw’ebyo bye baamuyisaamu.
Kyobutungyi bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti, ayaniriza mukama we omupya
n’agattako nti ebyaliwo tebyali mu mutima mubi wabula byali bya mirimu ate ekirungi buli ludda lwavaawo lumativu era bajja kutambuza emirimu ne mukama we omupya.
Wabula omu ku Badayirekita mu poliisi yagambye nti Loketch musajja atalina buzibu ku bantu abakola obulungi emirimu gyabwe era ensonga bwe ziba zaggwa nti ezo azivaako n’atunuulira ebibatwala mu maaso.
Abalala abali mu kutya be bapoliisi abagayaavu, abasuulirira emirimu gyabwe n’abeenyigira mu nguzi oluvannyuma lw’okukitegeera nti Loketch gwe babaleetedde tattira muntu ku liiso bw’aba akoze ebikontana n’enneeyisa n’enkola entuufu
ey’ekiserikale.
Abamu bagamba nti ne ku kyali e Namugongo, yatabuka ng’omu ku baserikale abaaliwo
agezaako okumukolera obubonero obusaba enguzi, nti era kye kyamuggya mu mbeera.
Ebbanga Loketch lye yamala e Somalia ng’aduumira eggye erikuuma emirembe, ayogerwako ng’eyakwasisa abaserikale empisa era bangi baabonerezebwa mu
bukulembeze bwe.
Olw’okulwanyisa ennyo abatujju ba Al-Shabaab, baamukazaako erya ‘Lion of Mogadishu’ ekitegeeza ‘Empologoma y’e Mogadishu’ (ekibuga ekikulu ekya Somalia) olw’obukambwe, obumalirivu n’obukugu bwe yakozesanga ng’atuukira ddala
mu nfo z’abatujju ng’ali wamu n’abajaasi be yaduumiranga wakati wa 2011 ne 2012.
Ajjukirwa nnyo olw’ennumba ze yakola okuwamba ebifo ebiriraanye akatale ka Bakara mu Somalia n’abiggya mu mikono gy’abatujju.
Enkola ye nti yawaliriza ne Pulezidenti wa Somalia, Mohammed Abdullahi Mohammed
eyakazibwako Fermajo okusaba Pulezidenti Museveni addemu aweerezeeyo Loketch era n’addamu n’asindikibwa e Somalia mu 2017 okutuuka mu 2018.
Kati Loketch ye munnamagye owookutaano ku bali ku ddaala erya waggulu mu poliisi nga yeegasse ku Badayirekita ba poliisi 4 abaaweebwa ebifo nga bava mu magye okuweereza mu poliisi.
We baamulondedde ng’ali South Sudan ku mirimu egy’enjawulo egyamutumwa eggye
lya UPDF omuli n’okuyambako endagaano y’emirembe eyakolwa okussibwa mu nkola.