Emmwaanyi zirama lw’ozisimba - Mukugu

OMWOLESO gwa Harvest Money ogutegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde gukyagenda mu maaso.Ku Mmande nga April, 12 abakugu baasomesezza ku mmwaanyi nga baakulembeddwa Dr Godfrey Kagezi okuva mu kitongole ekikola ku kunoonyereza ku mmwaanyi ekya NACORI ne Joseph Nkandu okuva mu kkampuni ya NUCAFE egatta abalimi b’emmwaanyi.Nkandu agamba nti, “okulima emmwaanyi ssaayansi. Olina okukukola mu ngeri ey’ekikugu ng’osooka kukebera ttaka, okufuna endokwa ez’omutindo ng’oziggya ku nnasale ekakasiddwa ab’ekitongole ky’okulimaemmwaanyi.Yakubirizza abalimi okuva ku nsimba ey’amabanga aga mmita 3 ku 3 mu kika kya Robasta kuba wano ofuna ebikolo 450 mu yiika emu. Ensimba ey’omulembe kati(eya Brazil), osimba mmita 3 wakati wa layini ate okuvaku kikolo mmita emu olwo n’ofuna ebikolo 1,333 ate Arabika simba mmita 2 ½ ku1 nga wano ofuna ebikolo 2,000.”Yayongedde n’akkaatiriza nti, “Omutindo gw’emmwaanyi z’onookungula gutandikira mu nnimiro. Bw’oba oyagala ofunemu,zirabirire nnyo. Tolina kuleka nnimiro kuzika, noga emmwaanyi zonna ezimyuuse,zaanike waggulu ate tozireka kukukula. Abalimi ffenna tulinaokukimanya nti omutindo gw’emmwaanyi tegutandikira ku kunoga wabula mu nnimiro,okuva ku kusimba olwo ku makungula ne tubeera nga tukuuma omutindo ogwatandikaedda,” bwe yawunzise. Ku lunaku luno kkampuni eziwera okuli; Alfasan Uganda Ltd, Bles Dairies, Business Lab, Champrisa, Diary Impact Cluster, Dr. Tonny Kidega, Dutch Seed Centre, Hendrix Genetics, High mark Dairy Farm, House of Seed, John Bagada,Kiddu, African Mushroom Growers, Koudijs, One acre Farm unlimited,Potato, Skettering, Trouw Nutrition Company film, Uniform agric be baayolesezza. Emisomo gino giragibwa ku ttivvi za Vision Group zonna.ENGERI GY’OFUNA MU KULUNDAEBYENNYANJA Ku Lwokubiri nga April, 13 omusomo gwabadde kukulunda byannyanja.Ali Kiyaga, omulunzi w’ebyennyanja e Luweero agamba nti okulunda ebyennyanjabizinensi evaamu ssente ate ng’ekuuma n’obutonde kuba abantu abalina entobazzi,mu kifo ky’okuziyiwamu ettaka basobola okubisimamu ebidiba ne balunda ebyennyanjaate ne bafuna ssente. Yagambye nti okufuna mu kulunda ebyennyanja, olina kutandikira ku kusima ekidiba mu ngeri entuufu, okufuna ensigo oba obwennyanja obutuufuokuva ku mulunzi era wandisoose kukyala ku bidiba bye n’olabako.Mu musomo gwe gumu, September Vincent, omulunzi w’ebyennyanja yagambye nti kikulu okumanya ekika ky’ebyennyanja by’ogenda okulunda kikusobozese okumanya ffaamu kw’ogenda okufuna obwennyanja obw’okulunda.Kkampuni ya KF Agri Tools Supplies ne Makiga Appropriate Technologies Ltd be baayolesezza.OKULIMA OVAKEDOEggulo ku Lwokusatu nga April 14, omusomo gwabadde ku kulima ovakedo w’ekika kya Hass. Ivan Chemonges omukugu mu birime agamba nti ovakedo ekika kinokye kisinga okuvaamu butto, ebiriisa ebingi ate ng’akula mangu.Mu myaka ebiri obeera otandise okukungula.Yakubirizza abaagala okulima ovakedo okusooka okutegeka obulungi ennimiro, okufuna endokwa entuufu okuva ku nnasale entuufu n’okulabirira ennimiro zaabweobulungi.

PREMIUM Bukedde

Emmwaanyi zirama lw’ozisimba - Mukugu
NewVision Reporter
@NewVision

OMWOLESO gwa Harvest Money ogutegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde gukyagenda mu maaso.
Ku Mmande nga April, 12 abakugu baasomesezza ku mmwaanyi nga baakulembeddwa Dr Godfrey Kagezi okuva mu kitongole ekikola

Login to begin your journey to our premium content