Bamasheikh bongedde bwiino ku kiraamo kya Muzaata

Mar 02, 2021

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta kye bayita ekituufu.

Bamasheikh bongedde bwiino ku kiraamo kya Muzaata

Kizito Musoke
Journalist @New Vision

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta kye bayita ekituufu.

Sheikh Umar Swidiq Ndawula eyali mukwano gwa Muzaata eyasomye ekiraamo ekyayongedde okwogeza abakazi n'abooluganda lwa Muzaata ebikankana. Sheikh Ndawula ayongedde okulemerako n’agamba nti tali mu bantu abamala googera bintu bye batamaze kwekenneenya.

Kiddiridde Ibrahim Ssebunya mwannyina wa Kluthum Nabunya (muka Muzaata) era omwogezi w'oludda lwa Kluthum, okutegeeza nti ekiraamo ekyaleeteddwa si kituufu.

Ezimu ku nsonga kwe yeesigamye mulimu okubeera nga tekiriiko baakijulira, kyogera ku baana basatu ate ng’abamanyiddwa bali bataano. Kwagamba n’okugamba nti Muzaata bwe yali awandiiko gy’abeera mu kifo kya Muzaata yawandiika “Kawe”.

Ndawula akalambidde n’agamba nti abantu bwe baba boogera ku by’ekiraamo kya Muzaata balina okumanya ekika ky’omuntu gwe boogerako. Ekiraamo kya Muzaata agambibwa okukikola nga August 17,2020.

“Yali Sheikh atabuusibwabuusibwa, yali omukulu wa ba Imaam, omukulu wa Daawa era omwogezi wa ofiisi ya Supreme Mufti. Bwe kityo ensonga ze zirina kutaputibwa mu nkola ya Busiraamu era zirina kukolebwako abakugu mu nsonga z’obusiraamu” Sheikh Ndawula bwe yagambye.

Eno y’ensonga lwaki bwe balaba omuntu atateekeddwa kufuna ku maali y’omugenzi ng’alwana, kibeera kibakakatako okusitukiramu ng’abamanyi.

Mu mateeka g’Obusiraamu yagambye nti ekiraamo kisobola n’obutaba kiwandiike ne kibeera mu bigambo, kasita bakakasa nti ddala omugenzi ye yabyogera.

Obuwandiike si kye kikulu wabula bwesigwa era y’ensonga lwaki omuntu omu asobola okulaba omwezi nga gulabise, enkeera Abasiraamu ne basiiba.

Kyokka olumu kisobola okuba ekiwandiike ne bakikkiriza nga tekuli baakijulira. Omuntu asobola okuwandiika ekiraamo yekka nga tewali bajulizi. Ekikulu kye bafaayo kwe kuba nga kiri mu mukono gwa mugenzi yennyini era nga yateekako omukono.

Oluvannyuma ekiraamo kino akiwa abantu abeesigika abobuvunanyizibwa nga Sheikh Muzaata bwe yakola.
“Ekiraamo kya Sheikh Muzaata yakiwandiika mu mukono gwe ogumanyiddwa era n’akiwaako abantu abeesigika. Abawakanya wano we balina okutandikira okusinga okunoonya ebyekwaso ebirala.

Abawakanya eby’omuwendo gw’abaana nti baali bataano yabasabye obutamala budde, wabula baggyeyo obukakafu obukakasa nti tebaali basatu. Ebyokugamba nti Muzaata gyabeera yawandiika ‘Kawe’ mu kifo kya Kawempe yabiyise byekwaso n’asaba ababyogera okuleeta ekiraamo mwe biri.

Sheikh Yasin Kiweewa atangaazizza
Sheikh Kiweewa ye yali amyuka Sheikh Muzaata mu kibiina kya Muzaata And Others Hijja and Umrah ekitwala abalamazi e Makka, agambye nti Omusiraamu asobola okwekolera ekiraamo yekka nga tewali bajulizi kasita akiteekako omukono gwe ogusukka ku gumu era nga kiwandiikiddwa mu mukono gwe.

Okulaama omuntu alina okuba nga takakiddwa okukikola era ng’ategeera bulungi. Alambika abaana bonna b’onna b’alina n’amannya gaabwe, amannya g’abakyala, amabanja g’alese awamu n’abamubanja nagattako n’ebyobugagga byonna byalese.

Omufu abeera wa ddembe okugaba ku by’obugagga bye ebitasukka kimu kya kusatu eri omuntu yenna atali mwabo ababa bateekeddwa okufuna. Abateekeddwa okufuna kuliko; abaana, abakazi, bannamwandu, n’abazadde.

                       Kluthum Muzaata

Kluthum Muzaata

Omusiraamu era abeera wa ddembe okuteekamu abantu abalimunaaza, n’abalikulemberamu esswale ye esembayo.

Kyokka omuntu bw'aba asazeewo okujuliza alina okuba omuntu asukka omu. Kibeera kirungi omugenzi ne yeesigalizaako kkopi eyiye gy'akuumira mu nnyumba.

Sheikh Kiweewa yagambye nti Obusiraamu bulagira okulaama buli luvannyuma lwa nnaku ssatu kuba bingi ebiba bikyuka. Osobola okulaama mu bigambo, kyokka birina okubaako abajulizi abasukka omuntu omu.

FAMIRE YA KLUTHUM EKYASIMBYE NAKAKONKO
Ibrahim Sebunya mwannyina wa Kluthum yagambye nti waliwo abantu Katonda be yawa ekitone ky’okujingirira emikono gy’abantu kyakkiriza nti be bamu abaakozesebwa okucupula omukono gwa Muzaata.

Yagambye nti y’ensonga lwaki baatuuka n’okutankana omuwendo gwa baana abali abataano. Yagambye nti yamala ebbanga ng’atambula ne Sheikh era abaana b’amanyi bali Shafic Kakembo nga ye mwana omukulu era ne maama we waali, Amjad Ssozi, Hamida Nassozi, Hadijah Kabiite ne Anwar Ssessanga.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});