Bya: Deogratius Kiwanuka
Bano be bamu ku bantu ab'enjawulo abazze bafa mu bubenje obutali bumu. Ebimu ku bisongeddwaamu ennwe ebivaako obubenje buno mulimu engeri abavuzi gye batendekwamu
OBUZIBU KWE BUSINGA OKUVA.
ACP Charles Ssebambulidde akulira okukwasisa empisa ku nguudo mu ggwanga alaze ebisinga okuvaako obubenje obusukkiridde ku nguudo, ng'olunwe asooka kulusonga ku nguudo ezitali ku mutindo. Agamba nti obuzibu we buva be bakozesa enguudo obutakkiriza nti enguudo zaffe si nnungi kubanga bandibadde bavuga ebidduka nga beegendereza. Ssinga kiyingira mu bantu nti enguudo ennungi bandivuze n'obwegendereza. Ebirala ebireeta obubenje yabirambise bw’ati:
Okuvuga endiima, Kino kyabulabe era kye kikulembera mu bireeta obubenje.
Obumanyirivu: Obubenje buva ku bantu abatandika okugoba ebidduka nga tebakutte ku bidduka kumala bbanga. Kino kisinga mu bavuzi ba takisi abalekera bakondakita ebidduka olw’okuba babalabye nga basobola okuseetulamu. Omuntu nga oyo okumussa ku luguudo atambuze abantu kyabulabe.
Ebidduka ganyegenya: Bino bye bidduka ebyaggwa edda ku mpagala nga bikaddiye n’ebimu ebyuma bikunkumuka. Bino bye bimu ku ebyo ebiremerera abagoba ne bikola obubenje.
Enkula y’enguudo: Abagoba b’ebidduka batuula ku bidduka nga tebeegenderezza nkula ya nguudo kwe basaabalira. Enguudo ezirimu amakoona, ebinnya obuwonvu n’obukko omuntu yenna akozesa oluguudo biteekwa okuba nga bimuli ku mutima nti yenkula y’enguudo zaffe. Kino bwe kibula mu bwongo bw’omugoba n’alowooza nti avugira ku museetwe kivaako obubenje buli kaseera.
Samson Okung omukugu mu bidduka ate nga musomesa ku Lugogo Vocational Training Institute agamba nti ekimu ku byongedde obubenje gwe muwendo gwa Pikipiki ogweyongedde ku nguudo wamu n'omuwendo gw’emmotoka ogweyogera buli lukya.
Tekyandibadde kizibu wabula ebidduka okweyongera ng'okubangula ababivuga tekweyongedde kyabulabe era kyongera obubenje.
Okuddaabiriza ebidduka n’okussa mu nkola amateeka g’okunguudo tebiteereddwa mu nkola.
ALIPOOTA YA POLICE KU BUBENJE
ACP Charles Ssebambulidde ategeezezza nti wakati wa 2016 ne 2019 lipooti yalaga abantu 10,537 abatambuza ebigere kw’ossa n’abavuga pikipiki abaafa obubenje bw'oku nguudo.
6,210 abaafa baatomerwa nga batambuza bigere ate 3,651 baali bavuzi babodaboda era okunoonyereza kwa poliisi kwalaga nga abantu 1,485 bwe baafa mu mwaka gwa 2019.
Agamba nti obubenje obusinga bwewalika. Envuga ey’ekimama n’obutassa mu nkola mateeka kye kyongedde obubenje bw’ebidduka ku nguudo.
Obubenje bw’ebidduka 80 ku buli 100 busobola okwewalika.