ABAWAGIZI ba SC Villa eggulo(Lwakusatu June 2, 2021) baavudde e Bombo ng’ennyindo y’enkata oluvannyuma lw’abagenyi aba Vipers SC okubalumba ewaabwe ne babakonkonerayo ggoolo 2-0 ezaabaggye mu mpaka z’ekikopo kya StanBic Uganda Cup sizoni eno ku mugatte gwa (3-1).