Aba Deutsche Welle basiimye munnamawulire wa Bukedde

31st May 2021

Ekitongole ky’eby’amawulire mu ggwanga erya Germany ekya Deutsche Welle kisiimye omusasi wa Bukedde Tv David Musisi Kalyankolo ow’e Mukono ne satifikeeti emwebaza ng’omu ku bannamawulire  abaabulako akatono okulugulamu obulamu, abeewaayo okukola omulimu gwabwe  mu mbeera eyali enzibu ennyo eya  Covid 19.

Aba Deutsche Welle basiimye munnamawulire wa Bukedde
NewVision Reporter
@NewVision

Kalyankolo, ajjukirwa okukubwa eyali akulira poliisi y’e Nakisunga  Noah Mukose n’omuggo ogwamutuusaako olubale olw’amaanyi ku mutwe n’addusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka, bwe yali akola omulimu gwe ku ntandikwa y’omwaka oguwedde, n’amala ku kitanda  emyezi egyawera.

Peter Limbourgh avunaanyizibwa ku kitongole kino, mu bubaka bwe ku mutimbagano yannyonnyodde nga satifikeeti zino bwe zaaweereddwa bannamawulire mu mawanga ag’enjawulo okwetooloola ensi okuli ne Africa olw’obuvumu bwe baakozesa mu biseera by’omuggalo okulwanirira eddembe lyabwe ery’okwogera n’okukola omulimu gwaabwe wakati mu mbeera ey’okunyigirizibwa awatali kutya.

Satifikeeti Eyaweereddwa Kalyankolo Owa Bukedde Tv.

Satifikeeti Eyaweereddwa Kalyankolo Owa Bukedde Tv.

Yategeezezza ng’era awaadi zino bwe zaagabiddwa okulaga obwetaavu bwa bannamawulire naddala mu biseera eby’obutabanguko okumanyisa abantu ebibeera bigenda mu maaso olw’ensonga nti gwe mulimu gwabwe, era bw’atyo n’asaba gavumenti mu nsi zonna okuvumirira embeera ey’okutyoboola eddembe lya bannamawulire wabula babalwanirire.

Kalyankolo  yasiimye satifikeeti eyamuweereddwa kyokka n’asaba bannamawulire bonna mu mawanga ag’enjawulo okulemerako, n’okuba abavumu mu buli mbeera yonna okukola obulungi omulimu gwabwe awatali kutya.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.