Zari Hassan: Apangisizza abakozi 50 n’abatwala ku mbaga ye e South Africa

ZARI Hassan apangisizza abakozi abasoba mu 50 n’abatwala e South Africa okuyambako mu nteekateeka z’embaga ye n’omulenzi we, Shakib Lutaaya.

Zari Hassan: Apangisizza abakozi 50 n’abatwala ku mbaga ye e South Africa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Shakib Lutaaya #Zari Hassan #South Afrika

ZARI Hassan apangisizza abakozi abasoba mu 50 n’abatwala e South Africa okuyambako mu nteekateeka z’embaga ye n’omulenzi we, Shakib Lutaaya.

Kigambibwa nti Zari mu be yatutte mulimu; abafumbi, abatimbi, badizayina n’abalala era abamu baalinnya ebbaati wiiki bbiri eziyise okusobola okwetegekera olunaku, wadde ng’ate abamu baategeezezza nti tebamanyi lunaku lutuufu n’ekifo omukolo we gugenda okubeera olw’okwagala okugukuuma nga gwa kyama.

Omu ku baagenze, yategeezezza Bukedde nti ye yaweebwa kontulakiti y’okwambaza abagole nti era ekibinja kya Bannayuganda ekyasembyeyo kyatuuse ggulo.

Yategeezezza nti okuva lwe yatuuse yabadde tannayogerezeganya na ttimu eri mu nteekateeka kyokka nga yabadde asuubira okubasisinkana mu bbanga eritali lya wala.

Abaatwaliddwa babadde basuzibwa mu wooteeri ez’enjawulo era abasinga tebamanyi kifo embaga eno w’etegekeddwa, balinda bulinzi kye banaabagamba. Kigambibwa nti akamu ku bukwakkulizo obwateereddwaawo ke k’abaneetaba ku mbaga bonna okwambala engoye enjeru.

Zari alina enju e South Africa mu kibuga Pretoria era nga gye buvuddeko yalondebwa okwetaba mu kazannyo ka kkampuni emu aka Young, Rich and Famous akalagibwa ku mukutu gwa ttivvi ogumu.

Mu kazannyo kano mulimu bassereebu ab’enjawulo okuva mu mawanga ga Africa ag’enjawulo nga ne Diamond Platnumz azannyiramu. Waliwo abagamba nti embaga kkampuni eno y’egitaddemu ssente, y’ensonga lwaki ekuumiddwa nga ya kyama era ne batagikolera mu Uganda.

Zari ne Shakib baatandika okulaga omukwano gwabwe mu lujjudde omwaka oguwedde oluvannyuma lwa Zari okumala ebbanga ng’ali yekka okuva lwe yayawukana n’omuyimbi Diamond Platinumz Omutanzania, taata w’abaana be ababiri.

Gye buvuddeko Zari ne Shakib bajja mu Uganda era kigambibwa nti Zari n’ayanjulira kitaawe omulenzi we, n’agamba nti mu basajja bonna be yali abaddeko nabo mu mukwano, tewali yamulaga nti ali siriyaasi mu by’obufumbo nga Mwami Lutaaya.

Kigambibwa nti okujja kuno abaagalana bano baasooka kuwoowebwa mu April e South Africa.

Embaga bw’eneebaawo Shakib ye musajja anaaba asoose okwambaza Zari kadaali kubanga omugenzi Ssemwanga eyamuzaalamu abaana abakulu, baakoma ku kwanjula ne baawukana, ate Diamond Platinumz baakoma ku kya kuzaala baana.