Mukazi wa Shakib asitudde enkundi n'alumba Zari

OMUKAZI agamba nti mukyala wa Shakib ow’empeta asitudde enkundi olumulabye ng’apepeya ne Zari n’amutabukira. Shamira Nalule amanyiddwa nga Mimi nga mu kiseera kino abeera mu Amerika ye yavuddeyo n’atabukira Shakib Lutaaya  ng’agamba nti yamusaba dda okwawukana naye mu mateeka kyokka n’agaana so nga ye ennakuzino apepeya ne Zari Hassan ekintu ye ekimulese mu bbanga.

Shakib ne Zari ku mukolo ogumu omwaka oguwedde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUKAZI agamba nti mukyala wa Shakib ow’empeta asitudde enkundi olumulabye ng’apepeya ne Zari n’amutabukira. Shamira Nalule amanyiddwa nga Mimi nga mu kiseera kino abeera mu Amerika ye yavuddeyo n’atabukira Shakib Lutaaya  ng’agamba nti yamusaba dda okwawukana naye mu mateeka kyokka n’agaana so nga ye ennaku
zino apepeya ne Zari Hassan ekintu ye ekimulese mu bbanga.
“Njagala twawukane mu mateeka nfune obufumbo obulala kubanga siyinza kubeerawo mu kujoogebwa,” Nalule bwe yategeezezza omu ku mikwano gye Ritah Kaggwa ng’ono abeera Bungereza.
Ritah Kaggwa yategeezezza Bukedde nti Nalule yamutuukiridde n’amukaabira ennaku gy’alimu ng’agamba nti baabawoowa ne Shakib mu 2016 kyokka oluvannyuma
ne bafunamu obutakkaanya era buli omu abadde ali bibye, wabula ekya Shakib okufuna Zari kyamulaze nti takyamuddira kwe kumusaba baawukne mu mateeka, wabula Shakib tannakkiriza.
Nalule agamba buli lw’akubira Shakib essimu ng’amusaba baawukane mu butongole
ng’amateeka g’Obusiraamu bwe galagira, abeera mu kwebuzaabuza nga n’oluusi tayagala kukwata ssimu ye.
Bino olugudde mu matu ga Shakib n’amwambalira nga yeebuuza bulijjo Nalule gy’ali okuba ng’avuddeyo mu kiseera kino.
“Bulijjo oli ludda wa okuvaayo kati? Omaze kulaba nga nfunye Zari wange?”
Shakib agamba nti, Nalule ekimwogeza bino buggya. Yeewuunyiza Nalule okukimussaako nti baabawoowa mu mateeka kyokka ng’akimanyi nti buli kyakolebwa
mu kiseera ekyo kyali kipange bupanzi.
Agamba nti Nalule yamutuukirira n’amusomera ddiiru y’okumutwala mu Amerika n’amugamba nti kijja kwanguwa singa bakola obufumbo era Shakib n’akkiriza, wabula nga byonna byali bya kicupuli. Agattako nti, ye amanyi baayawukana dda ne Nalule
era okuva olwo abadde aganza abawala ab’enjawulo, wabula Nalule abadde tavangayo kumusaba baawukane mu butongole, ekyongera okukakasa nti kirabika obuggya bwe bumutawaanya oluvannyuma lw’okulaba nga laavu ye ne Zari buli olukya yeeyongera
kukula.
Yagambye nti Nalule abadde mu mukwano n’abasajja ab’enjawulo era ng’abazaddemu
n’abaana, wabula ye tavangayo kwemulugunya ku nsonga eyo. Shakib agamba nti ekimu ku byabaawula ne Nalule kwe kuzuula nga beddira omuzirogumu, kwe kwefunira Zari gw’apepeya naye ennaku zino. Zari amaze ebbanga ng’apepeya ne Shakib era gye buvuddeko bwe yabuuzibwa oba nga ebya laavu yaabwe biri siriyaasi yakakasa nti; oyo ye musajja gw’ayagala, abo abalowooza nti tamugyamu bali ku byabwe.
Abaagalana bano babeera kuno n’e South Africa, era olumu baafulumya akatambi nga Zari akakasa nga Shakib bwe yamusabye amutwale ewaabwe amwanjuleyo