Bya Zulaika Iqra Nakato
MAKERERE University etegese olusiisira lw'ebyobulamu olugendereddwamu okukola okukebera endwadde ez’enjawulo, okuzuula obulwadde nga bukyali n’okuwa abantu amagezi n’obujjanjabi obwetaagisa. Abagenda okusaba obujjanjabi bajja kukeberebwa endwadde omuli HIV/AIDS, sickle cell, malaria,pressure ,sukali awamu n’endwadde endala ezitera okukosa abantu.
Ssenkulu wa Makerere Yunivasite, Prof. Barnabas Nawangwe, n'akulira Abayizi (Dean of Students) Dr.Rodney Rugyema basabye abayizi n’abakozi ba yunivasite okweyambisa omukisa guno okukebelerwa edwadde ezejawulo n'okufuna obujjanjabi.
Medical Camp etandika okuva nga 17 okutuuka nga 18 September 2026, ng’ekigendererwa kyakyo kukwasiza abayizi, abakozi n’abatuuze okwetooloola yunivasite okufuna obujjanjabi n’okukebera obulamu bwabwe.
Mu Medical Camp eno, abagenda okugyetabamu bajja kufuna obuweereza obw’enjawulo obw’obujjanjabi, omuli okwekebeza endwadde, okufuna amagezi ku ngeri y’okukuuma obulamu n’obujjanjabi obwetaagisa.
Barnabas Nawangwe asabye abantu obutalinda kulwala nnyo nga tebannagenda kufuna bujjanjabi, wabula okukozesa omukisa guno okwekebeza n’okumanya embeera y’obulamu bwabwe.
Omukulembeze w’Abayizi mu byobulamu (Guild Health Minister) Wamezaya Ebeneser naye akubirizza abayizi okwetaba mu Medical Camp, ng’agamba nti "obulamu obulungi bukulu nnyo eri omuyizi okusobola okusoma n’okutuukiriza ebiruubirirwa bye.