Trump gw’aleese okukulira CIA alina akakwate ku Uganda
Nov 13, 2024
TRUMP alonze abasajja abazibu ennyo babiri mu Gavumenti ye okukola ku by’okuzza abagwiira ewaabwe n’eby’obukessi mu nsi yonna ng’omu obuzaale bwe bwekuusa ku Uganda.
Trump gw’aleese okukulira CIA alina akakwate ku Uganda
TRUMP alonze abasajja abazibu ennyo babiri mu Gavumenti ye okukola ku by’okuzza abagwiira ewaabwe n’eby’obukessi mu nsi yonna ng’omu obuzaale bwe bwekuusa ku Uganda.
Omusajja omuzibu asooka ye, Tom Homan, Trump gw’akwasizza obuvunaanyizibwa okulawuna ensalo za Amerika zonna okuva ku ya Mexico etawaanya ennyo Amerika olw’abagwiira abangi abagisalinkiririzaako nga bava mu mawanga okuli erya Brazil, Cuba n’amalala agakyakula.
Thomas Homan
Amulagidde okutandika okunoonya abagwiira abali mu Amerika nga tebalina mpapula abase ku bbali awo, alinde olunaku lwa January 20, 2025 lw’anaalayizibwa ku bwapulezidenti, enkeera asse omukono ku kiragiro ekibafuumula mu Amerika nga tebeesiikidde mpande!
Trump yalaga dda bw’agenda okuteekawo etteeka ery’amangu ku lunaku lw’alayira nga January 20, 2025 okugoba abagwiira obukadde 11 mu nsi ye.
Mu kisanja kya Trump ekyatandika mu 2017 ne kiggwaako mu 2021, Tom yali akola nga Dayirekita w’ebyensalo za Amerika n’ebyemisolo ku nsalo, kati agenda kukulira ekitongole kyonna mu bujjuvu.
Omusajja omulala omuzibu Trump gw’aleeta ye, Patel Kash agenda okuvunaanyizibwa ku kitongole kya CIA ekiketta ebweru wa Amerika. Ekyo ky’ekitongole ekisinga mu by’obukessi mu nsi yonna.
Taata wa Patel azaalibwa mu Uganda nga y’omu ku Bayindi abaagobwa Idi Amin mu 1972 bwe yali Pulezidenti wa Uganda.
Amawulire ga NDTV gagamba nti, Trump asonze ku Patel kubanga ne we yaviira mu ntebe ku kisanja ekyasooka gwe yali atunuulidde ku ky’obumyuka bw’ekifo ekyo. Patel ayagala nnyo Trump, buli ky’akola aloota Trump, nti mu kunoonya akalulu abadde akola nga maneja wa kampeyini wadde teyakiweebwa mu butongole.
Amawulire amalala aga ‘The Atlantic’ gaagambye nti, Patel ono nga looya omutendeke, y’asinze okusongebwamu okulondebwa Trump olw’obumanyirivu bw’alina mu by’obukessi. Abeera New York ekibuga Trump gy’azaalibwa era gy’alina bizinensiby’abapangisa ba wooteeri, amaduuka n’aw’okusula.
Patel ne gye buli eno akyevuma obusosoze mu langi n’ebiti ebirala mu nsi. Amawulire ago gaayogedde naye n’agamba nti, obusosoze ye sitaani asinga.
Amin okugoba Abayindi yasinga kwesigama ku ngeri gye baali beefuzeemu ebyenfuna by’eggwanga kyokka yavumirirwa ensi yonna ku kye baayita obusosoze n’obutateeka kitiibwa mu ddembe lya buntu.
Abayindi abasinga badda ewaabwe abalala ne bagenda e Bungereza eyali efuga Uganda mu bufuzi bw’Amatwale ne Amerika esinga okufa ku banyigirizibwa.