ABADDE ssentebe w’ekyalo kya Maganjo B Hajji Jabeli Musoke afudde mu kiro ekikeseeza leero.
Afiiridde mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma ly’okutawaanyizibwa obulwadde bwa pneumonia kyokka olwaleero lw’abadde agenda okutandika kakuyege we ow’okunoonya akalulu.
Hajji Musoke afudde nga yaakafugira ekyalo kino emyaka 40. Obulwadde obumusse bwamutandika ku Ssande okwosa ejjo, ne bamuddusa mu ddwaliro e Mulago gy’afiiridde ng’obudde bukya.
Mu kaseera kano omulambo gwe gukyali mu ggwanika e Mualgo nga abaffamire bwe bagenda mu maaso n’enteekateeka ez’okuziika.
Omuwandiisi w’ekyalo, Tumusiime Mary agambye nti omugenzi abadde mukwatampola era baabadde bategese okutandika okunoonya akalulu olwaleero kyokka tekisobose. Ategeezezza nti abadde ajjidde ku kkaadi ya NRM.
Mmeeya wa diviizoni y’e Nabweru Robert Maseruka Mutte agambye nti nga ekitundu kifiiriddwa nnyo kuba omugenzi Musoke bingi bye bagenda okumwenyumirizaamu nga abakulembeze.