Bya Kizito Musoke
OBUTAKKAANYA bwa Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira) ne Yusuf Nsibambi (Mawokota South) buzzeemu nga ku mulundi guno busibuse ku alina okutuula mu ofiisi y’akulira ababaka ba FDC ku Palamenti.
Ssemujju ne Nsibambi baasooka okutabuka oluvannyuma lwa Ssaabawandiisi wa FDC, Nathan Nandala Mafabi okuwandiikira Sipiika ebbaluwa nga August 7, 2023. Ebbaluwa yali ekyusa Ssemujju ku bwa Nnampala wa FDC nga bamusikizza Nsibambi.
Kyokka kino Sipiika Anita Among yakigaana n’ategeeza nti ayagala basooke bamuwe obukakafu obukakasa nti emitendera gy’ekibiina gyonna gyagobererwa mu kukyusa Ssemujju kuba yali afunye okwemulugunya okuva mu babaka ba FDC abamu.
Ttabamiruka wa FDC eyatuula mu October yaddamu n’akakasa eky’okukyusa Ssemujju ne bamusikiza Nsibambi.
Nga October 10, 2023 omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa yategeeza Palamenti nga mukama we Among bwe yali akakasizza enkyukakyuka za FDC mwe baalondera Nsibambi.
Yusuf Nsibambi
Kyokka okuva olwo, Nsibambi agamba akoze buli ekisoboka okuyingira ofiisi kyokka Ssemujju n’agiremeramu wadde nga yategeeza abakulu bonna abakwatibwako.
“Ekyewuunyisa Ssemujju n’akapande ka nnampala wa FDC yakaggya ku mulyango naye ofiisi n’atagifuluma ekiraga nti alina ekiruubirirwa kya kugisigalamu. Mu kiseera kino sirina Ofiisi ntongole kuba gye nnalina ng’omubaka nnagiwaayo,” Nsibambi bwe yagambye.
Nsibambi yagambye nti ensonga yazitwala ew’omuwandiisi omukulu owa Palamenti ng’ayagala bamukwase Ofiisi. Kye baasembye okumugamba kwe kuba nti ensonga ze akulira eby’okwerinda ku Palamenti (Sergeant at Arms) azikolako. Naye tamanyi lunaku lutuufu lw’anaayingira Ofiisi ye mwe baamulondera.
SSEMUJJU AYANUKUDDE YUSUF NSIBAMBI
Ssemujju bwe yatuukiriddwa yeewunyizza Nsibambi okuba nga buli ky’alina kimutunduzza emmeeme n’atuuka n’okulowooza nti kye kijja okumufuula omukulembeze ow’enjawulo.
Ng’omubaka yagambye nti Ofiisi z’azze atuulamu yazze azisaba. Gye yasooka okutuulamu mu kiseera kino erimu Muhammad Nsegumire (Mityana North) ate endala mu kiseera kino erimu Robinah Rwakoojo (Gomba West) nga n’okulondebwa ku bwa Nnampala wa FDC yasangibwa ali mu ofiisi eno.
“Obuzibu bwa Nsibambi tamanyi nti n’akapande akaali ku luggi nze nnakeekozeseza ku Nkrumah. Alowooza nti FDC erina ofiisi zaayo ez’enjawulo ku Palamenti. Kye mmanyi anaatera n’okusaba ekifo we ntuula nga tuteesa mu Palamenti kuba alowooza kye kijja okumufuula nga Ssemujju,” Ssemujju bwe yagambye.
Yagasseeko nti Nsibambi ne Mafabi Ofiisi gyalimu ebasuza bakukunadde nga lumonde mu kikata era ky’ajja okukola agenda kugiwaayo bakkakkane.
Ofiisi eno yennyini agamba yalimu Corporate Planning nga tannagiggyamu, era nga tebeerangamu Nnampala wa FDC yenna.
“Nsibambi alowooza mu Ofiisi mulimu ebikusike era mu kwagala okwezza buli kye mbadde nakyo, yankyusizza n’anzigya ku kakiiko ka Bajeti ke mbadde ntuulako okumala ebbanga ng’alowooza nti olwo abeera annafuyizza,” Ssemujju bwe yagambye.
Ssemujju yategeezezza nti yawezezza emyaka 50 era kati ali mu kuzimba Ofiisi waka we w’asobola okusomera ebitabo bye ng’omusajja omukulu. Kijja kuba tekikyamwetaagisa kubeera mu Ofiisi za Palamenti.
OBUVUNAANYIZIBWA BWA NNAMPALA W’EKIBIINA
Nnampala abeera mubaka wa Palamenti alondebwa oludda lwe okukulira ababaka abali mu kibiina kye mu palamenti.
Ayinza okubeera Nnampala nga y’akulira ababaka b’oludda oluvuganya oba Nnampala nga y’akulira ababaka abali mu kibiina ekimu.
Obuvunaanyizibwa bwe kwe kulaba ng’ababaka b’avunaanyizibwako beeyisa bulungi, beetaba mu nsonga zonna ezibasuubirwamu, okwetaba mu ntuula za Palamenti n’okwetaba mu kulonda.
Bannampala b’ababaka b’ebibiina by’obufuzi era balina obuvunaanyizibwa okugaba ababaka ku bukiiko obwenjawulo obwa Palamenti.
Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore teyatangaazizza ku nsonga eno, oluvannyuma lw’okusangibwa ng’alina ensonga endala ezimukutte.