OMUSAJJA avudde mu mbeera n'afumita mukazi we ebiso ebimusse, abatuuze bamukkakkanyeko ne bamukuba okwagala okumumiza omusu , kyokka poliisi n'emutaasa.
Bibadde ku kyalo Mawale mu ggombolola y'e Makulubita e Luweero, Kenneth Wanjuli gy'agambibwa okufumita ebiso mukazi we Annet Patience 28 omukozi mu woteeri n'amutta.
Kigambibwa nti ono, abadde amulinamu abaana babiri era ng'okukola ekikolwa kino, kigambibwa nti abadde ava Buyende kwe kutuukira mu luyombo olubadde olw’amaanyi nga n'ekiddiridde kumufumita biso n'amutta.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twiineamazima, agambye nti poliisi esobodde okwanguwa n'emutaasa ku batuuze ababadde beesomye, ne bamuggalira ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.