Ndayishimiye nga mu Uganda alimu nga munoonyi wa bubudamu okuva e Burundi agamba nti mukyala we yayisibwa bubi nga n’okutuusa essaawa ya leero talya okuggyako okunywa .
Ndayishimiye yagasseeko nti bwe baatuuse ku kkoooti olunaku mukyala we baamuktute nga bagamba nti gwe baawawaabira naye yali yamuwawaabira era omu ku baserikale abakola ku kkooti gw’ataayatuukirizza mannya n’amutegeeza okuddayo enkeera ku Lwokusatu n’abaneeyimirira mukyala we.
Ndayishimiye yategeezeza nti mukyalawe ali mu mbeera mbi okubeera mu kkomera nga ne ssente ezaamusabiddwa tazirina kuba avuga bbooda ate alina n’okunoonyeza abaana ekyokulya.
Yayongeddeko nti Phillip okukuba mukyala we kyava ku Kwezirimana (mukyala we) okussa ebintu okuliraana Phillip w’akolera bwe yali abisengula okuva mu kadaala mwe yali akolera KCCA bwe yamenyawo.
Ono yaddukidde mukitongole ki Justice Centres Uganda okufuna obuyambi.
Comments
No Comment