NNAALINNYA Gertrude Tebattag-wabwe afudde ng’ebula eddakiika mbale omukolo gw’okujaguza amazaali-bwa ge ag’emyaka 80 gutandike.
Tebattagwabwe yabadde ayise mik-wano gye okumujagulizaako amazaali-bwa era buli omu gwe yayise obwedda amukomekkereza nti alina okutuuka ku ssaawa 8:00 zennyini.
Janat Nakiyingi, amanyiddwa nga Ssenga Nabbuto, omu ku mikwano egyabadde giyitiddwa anyumya bwati;“Nnaalinnya yasoose mu ssaaluuni, olwavuddeyo n’atuuka awaka. Wabula yatandise okuwulira obubi abaabad-dewo kwe kumutwala mu ddwaaliro erya Doctor’s Hospital e Sseguku, wabula ne bakabatema nti afudde,” Nakiyingi bwe yategeezezza.Bino byabaddewo ku Mmande emis-ana, era Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yabikidde Obuganda n’amwogerako nga omuntu aweerezza Obwakabaka era nga tava ku lusegere lwa Kabaka.
Tebattag-wabwe ajj-ukirwa nnyo olw’obuvuna-anyizibwa bwe yatuukiriza mu Masiro g’e Kasubi mu kiseera nga bbugwe azimbibwa n’okuzimbibwa kw’enju Muzibwazaalampanga ng’emirundi egisinga, atuukiriza obuvu-naanyizibwa bwa Nnaalinya. Eggulo enteekateeka z’okumuziika zaabadde tezinnafulumizibwa. Minisita w’amawulire mu Buganda, Israel Kazibwe Kitooke yategeezezza nti enteekateeka bwe zinaaba ziwedde, zijja kubuulirwa Obuganda.
Yagambye nti mu kiseera kino Obwakabaka buli mu nteekateeka z’okuziika eyali minisita w’Enkuluze mu Buganda, Amb. William Matovu agenda okusabirwa olwaleero mu Lutikko e Namirembe ate aziikibwe enkya ku Lwokuna mu maka ge e Mpala-Ntebe mu ssaza lya Busiro
Comments
No Comment