Ssaabasumba Ssemogerere yeekokkodde abakulembeze abeenyigira mu mivuyo gy'amabaati g'e Karamoja: 'Muswaza'

SSABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere atabukidde abakulembeze abasusse okuswaza abantu be bakulembera nga mu bano anokoddeyo abakungu ba gavumenti abeenyigira mu mivuyo egy'okubulankanya Amabaati agaali ag'okuddukirira abantu be Karamoja. 

Ssaabasumba Ssemogerere yeekokkodde abakulembeze abeenyigira mu mivuyo gy'amabaati g'e Karamoja: 'Muswaza'
NewVision Reporter
@NewVision

SSABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere atabukidde abakulembeze abasusse okuswaza abantu be bakulembera nga mu bano anokoddeyo abakungu ba gavumenti abeenyigira mu mivuyo egy'okubulankanya Amabaati agaali ag'okuddukirira abantu be Karamoja. 

Bino abyogeredde mu Mmisa ya mazuukira mu Lutikko e Lubaga ng’eno yetabiddwamu abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo nga gavumenti yakikiriddwaMinisita Omubeezi owebyenjigiriza avunaanyizibwa ku matendekero aga waggula Dr. J.C Muyingo, Minisita omubeezi ow’ensonga za Kampala Christopher Kabuye Kyofatoogabye, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n'abakungu abalala. 

Ssabasumba Ssemogerere yagambye nti kyannaku okulaba ng’abakulembeze abandibadde abasaale mu kulwanyisa enguzi n’obubbi mu ggwanga nga be beenyigira mu bikolwa eby’okubba n’okutwala ebintu by'abanaku okuli amabaati g'abanaku e Karamoja ky'agamba nti kiswaza eggwanga so nga ne Mmoto yaffe egamba nti, "Ku lwa Katonda n'Ensi yange'. 

Kyokka Ssabasumba Ssemogerere yasiimye engeri Poliisi gy'ekuttemu okunoonyereza ku nsonga z'amabaati g'e Karamoja n'asaba wabeerewo obwerufu n'abanene abalala bonna abeenyigira mu mivuyo gy'amabaati bakwatibweko. 

Ssaabasumba Ng'amansira Amzzi Agw'omukisa Ku Bakristu (1)

Ssaabasumba Ng'amansira Amzzi Agw'omukisa Ku Bakristu (1)

Akubirizza Bannayuganda bonna okweyambisa amazuukira ga Kristu okweddako n’okukyusa empisa n’emize emibi by'agamba nti bizza eggwanga emabega. 

Asabye gavumenti okuyimbula abasibe bonna abaakwatibwa olw'eby'obufuzi abakyali mu makomera. 

Mu ngeri y’emu Ssaabasumba asabidde Kabaka Mutebi Katonda ayongere okumukuuma era ne yeebaza Obwakabaka bwa Buganda olw’okuwa Eklezia ettaka awaazimbibwa lutikko. 

Katikkiro Mayiga asabye Bannayuganda okwefumittiriza ku nkola ey’okugabana obuyinza eya Federo kiyambe okumalawo obubbi n’obukenuzi obufumbekedde mu ggwanga. 

Agambye nti obulyake bwogeddwako nnyo mu Uganda kyokka ekkobaane ery’obubbi bw'amabaati erigenda mu maaso libadde lyaludde okulabika nga singa tewabaawo kikolebwa ekigendererwa ky’okukyusa eggwanga okulituusa mu lusse lw'amawanga agali yadde yaddeko (Middle class income) kiyinza okubeera ekizibu okutuukako nga mu ggwanga lyerimu mukyajjuddemu obolyake obwengeri eno.