Bya James Magala
ABASIRAAMU beeyiye ku muzikiti e Kibuli okusaala Juma, Sheik Hamid Tamusuza n'avumirira obunnanfuunsi obweyongedde mu Bannayuganda.
Sheikh Tamusuza akulembeddemu kutubba eno bw'abadde abuulira mu Juma e Kibuli agambye nti abantu bangi ensangi zino bettanidde nnyo ebikolwa eby'okweraguza nti kyokka Juma bw'etuuka ne beeyiwa mu muzikiti n'agamba nti kino kyoleka obukuusa obw'ekika ekya waggulu obweyongedde mu bantu.
Wano Sheikh Tamusuza agambye nti abantu basaanye okujjukira nti eriyo olunaku lw'enkomerero n'abawa amagezi okweddako benenyeze Allah.
Oluvannyuma lw'okusaala Abasiraamu abamu bafunye omukisa okubuuza ku Jjajja w'Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu.