SUPREME mufti wa Uganda, Sheikh Muhammad Galabuzi awadde Abasiraamu obubaka obubaagaliza ekisiibo ekirungi ekya Ramadhan n’abasaba okwekuumira ku nsomesa y’Obusiraamu kibayambeko okwewala okusiibira obwereere.
Sheikh Galabuzi ategeezezza nti abantu bonna balina okwetekateeka obulungi era bakimanye nti okusiiba si kulekayo bulesi byakulya na byakunywa kyokka wabula okutegeera nti omuntu asiiba n’ebiyungo by’omubiri gwe byonna n’ekigendererwa eky’okukikola ku lwa Allah.
Akubirizza Abasiraamu bonna abalina obusobozi obusiibulula abalala okukikola kubanga kirimu empeera nnyingi ddala mu mwezi guno ogwa Ramadhan.
‘’Tuyitirize nnyo okubeera abeesimbu era twegayirire Allah atusonyiwe wonna we tubeera tusobezza,’’ Sheikh Galabuzi bw’ategeezezza.
Akubirizza abantu bonna ababeera basiibye okukkakkanyangako ku maloboozi nga omwaziinyi ayaziina mu kaseera k’okusiibulukuka kubanga akaseera kabeera kakulu nnyo eri omusiibi era amaloboozi tulina okugakkakkanya nga bwe twanukula ebyo omwaziinyi by’abeera ayaziina.
Asabye abantu bonna okukozesa ekiseera kino beenenye kubanga ekyo Allah ky’asinga okwagala era akigabirako empeera....