Omulamuzi Allan Nshimye owa kkooti Enkulu mu Kampala alangiridde Phiona Nakku, Annet Birungi, Namubiru Margaret, Arinaitwe Rwakajara ne Agaba Gilbert ku bifo by’okukiikirira abakozi oluvannyuma lw’okugoba omusango nti abaawaaba tebaagoberera mateeka okussaayo omusango.

Nakku, omu ku baali baawawaabirwa.
Micheal Kamna Bhamusangala ye yali yawaaba omusango n’agamba nti okulonda kwabwe kwali kujjudde ebirumira ,tebaagoberera mateeka nga tewali na lukakala lwa balonzi, ate empapula kwe baasunsulira abavuganya 26 zaali nkyamu, ate akakiiko ne kalemwa okusazaamu ng’ate n’amannya nti n’enkalala za balonzi tezaaliwo
Kyokka abawawaabirwa nga bayita mu bannamateeka baabwe, Jude Byamukama ne Derrick Bazekuketta baawakanya empaaba ya Kamba nga bagamba nti yalemwa okuwa abawawaabirwa empaaba ye ate talina muzinzi mu mateeka kuwaaba musango ogwo nga n’abamu empaaba yagibaweera Ku WhatsApp nga teyakasa oba baagifuna.
Omulamuzi era agambye nti ensonga ezimu Kamba ze yawaaba zaali zirina kuwulirwa kakiiko ka byokulonda. Alagidde Kamba asasule be yawawaabira obudde ne ssente ze baasaasaanyiza mu musango