RDC asuuzizza bbulooka ettaka ly’abadde aggye ku nnamwandu

OMUBAKA wa Pulezidenti e Wakiso, Justine Mbabazi asuuzizza bbulooka w’ettaka eyeekobaana ne jjajja wa bamulekwa ne babba ettaka. Ettaka lya yiika 4 nga lisangibwa Maya mu disitulikiti y’e Wakiso.

RDC asuuzizza bbulooka ettaka ly’abadde aggye ku nnamwandu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Maya #Wakiso #Justine Mbabazi

OMUBAKA wa Pulezidenti e Wakiso, Justine Mbabazi asuuzizza bbulooka w’ettaka eyeekobaana ne jjajja wa bamulekwa ne babba ettaka. Ettaka lya yiika 4 nga lisangibwa Maya mu disitulikiti y’e Wakiso.

Robert Mawanda, bbulooka w’ettaka ye yagobeddwa ku ttaka lya nnamwandu Peruth Namayanja oluvannyuma lw’okwekobaana ne jjajja wa bamulekwa Mathew Ssentongo.
Nnamwandu Namayanja yagambye nti bba Francis Kiggundu yafuna ettaka mu 1969 era n’azimbako ennyumba nga kuno kwabadde n’abaana ebbanga lyonna.

Yagambye nti ettaka lino yalifuna okuva ku jjajja we Matthew Musisi nga yawaako mutabani we Kiggundu yiika 4 abeereko n’abaana be era namukwasa n’ekyapa.

Nti kyokka omusika wa Musisi (Ssentongo) bwe baamuwa ekyapa okukiggyako envumbo, yakitwala butwazi nga wano weyava okutandika okutunda n’okusaawa emmere ya nnamwandu.

Namayanja yagambye nti mu March w’omwaka guno, Ssentongo yagenda ne ttakisi ssatu nga zirimu bakanyama nga bali wamu ne Mawanda, ne batandika okutema emmere ye n’emiti gyeyali asimbye mu ttaka lino.

Ekyaddirira kwali kumulumba mu kiro ne batandika okukasuka amayinja ku nnyumba n’okumulabula okuva ku ttaka kuba eyali nnannyini lyo yafa nga tebalaba lwaki akyaliriko.

Kyokka Ssentongo bweyabuuziddwa lwaki atwala ettaka eritali lirye, yategeezezza nti abakaayanira ettaka ssi baana ba mugenzi Kiggundu era n’asaba RDC Mbabazi batwale abaana ku musaayi bazuule ekituufu.

Kyokka RDC Mbabazi bwe yabuuzizza Ssentongo ebiwandiiko kw’agambira nti ettaka lirye, yagambye nti teyatambudde nabyo nti naye ajja kufuna obudde abitwale mu ofiisi. Ye bbulooka Mawanda yategeezezza nti yagula yiika y’ettaka ku Ssentongo mu 2021 nga tamanyi nti waliwo enkaayana.

RDC Mbabazi yalagidde bbulooka Mawanda okwamuka ettaka lya nnammwandu kuba yagula mpewo era n’amusaba byonna byabadde akola ebireke.

Yalagidde nnamwandu okuddamu okukozesa ettaka lye.

Yasabye Ssentongo ne Mawanda okweyambisa kkooti okusinga ate okukola emivuyo nga tebalina na kiragiro kyonna ekibawa obuyinza okusaanyawo ebintu bya nnamwandu.