Amawulire

RDC alagidde okukwata abavuma abakulembeze

EKIRAGIRO kya RDC w’e Kalangala ekikwata n’okuggalira abantu abavuma n’abo abavvoola abakulembeze mu lujjudde kibatabudde abatuuze ne boogera ebikankana

Kwesiga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EKIRAGIRO kya RDC w’e Kalangala ekikwata n’okuggalira abantu abavuma n’abo abavvoola abakulembeze mu lujjudde kibatabudde abatuuze ne boogera ebikankana. Nnaalongo Eva Kwesiga okuyisa  kiragiro kino kyaddiridde omu ku babaka ba palamenti okulangira banne nga bwe baagwa mu kalulu akawedde nga tebasaana kuyitibwa ku
mukolo wadde ogwa nigiina.

Yagambye nti ekiragiro kino kitandikiddewo okukola nga bagenda kussa abantu baabwe ku buli mwalo abagenda okulaba nga bakissa mu nkola. Agamba nti abanaavuma Pulezidenti ne mutabani we Muhoozi nabo si baakubataliza.
Munnamateeka Moses Kabuusu ategeezezza nti tewali tteeka lyonna lisiba muntu lwakuvuma n’agamba nti agaliwo galagira kuggalira abo ababa banyiizizza omukulembeze w’eggwanga.

Tags: