EBYOKWERINDA byakedde kunywezebwa ku palamenti n'okwetooloola mu bitundu ebiriraanyeewo era amakubo gonna agatuukawo gaggaddwa nga beetegekera okukyala kw'omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okukungubagira abadde omubaka wa Adjumani west, Rt General Moses Ali.

Pulezidenti Museveni ng'ateeka ekimuli ku ssanduuke y'omugenzi Moses Ali.
Omubiri gwa General Moses Ali gutuusiddwa ku palamenti ku ssaawa 1:00 emu ez'okumakya ne guweebwa sipiika wa palamenti, Jacob Oboth Oboth.
Sipiika abadde wamu n'omumyuka we Thomas Tayebwa, kkiraaka wa palamenti Adolf Mwesige n'ababaka ba palamenti. Oluvanyuma omubiri gwa Moses Ali guyingiziddwa ewatuukirwa abagenyi.

Pulezidenti ng'awandiika mu kitabo ky'abakungubazi.
Pulezidenti Museveni atuuse ssaawa 3:00 okumukungubagira, n’awandiika mu kitabo kya bakungubazi oluvannyuma ku ssaawa 4:00, palamenti n’etuula okumukungubagira, n'okusiima emirimu emirungi gy’akoledde eggwanga.

Abamu ku baffamire ababaddeyo ku Palamenti mu kukungubagira Gen. Ali.
(Ebifaananyi bya Miriam Namutebi)