Amawulire

Abatuuze 20000 ku byalo musanvu e Kassanda baweereddwa ebyapa byabwe ne bafuna essanyu

MINISITULE y’ebyettaka mu ggwanga ewonyezza abatuuze 20,000 ab’e Ggombolola y’e Kitumbi e Bukuya mu Kassanda obupangisa bw’ebawadde ebyapa ku byalo musanvu ekibaleese akamwenyumwenyu ku matama.

Minisita Mayanja ng'ayogera
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

MINISITULE y’ebyettaka mu ggwanga ewonyezza abatuuze 20,000 ab’e Ggombolola y’e Kitumbi e Bukuya mu Kassanda obupangisa bw’ebawadde ebyapa ku byalo musanvu ekibaleese akamwenyumwenyu ku matama.

Ebyapa musanvu bya byalo okuli Kyalyabulo II, kyengera, kyalyabulo I, Kazinga, Lubaali, Bwandagi ne Kitumbi, nga minisita omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja yabikwasizza ba Ssentebe b’ebyalo bino n’avumirira abagobaganya abantu ku ttaka n’agamba nti bubakeeredde.

Nga tannabibakwasa, Ssentebe wa LCII Augustine Gasaasira ye yasoose okumwanjulira obugubi bwe bayiseemu okutuuka ku buwanguzi era ku lw’abatuuze ne yeebaza Gavumenti okuvaayo okubawa obutuuze obw’enkalakkalira.

Yagambye nti; baasooka kufuna mawulire nabo ge bataasooka kukkiriza nti Pulezidenti Museveni agenda kubawa ebyapa kyokka omubaka w’ekitundu Dr. Micheal Bukenya Kyabikoola we yakibakakasa nabo kwe kuguma. Yannyonnyodde nti obuwanguzi bwe batuuseeko ate Pulezidenti waakuwangulira waggulu mu kalulu akajja kuba baali baggyayo dda essuubi.

“Twali wano minisita w’ebbyettaka Judith Nabakooba n’atuusubiza nti m7 atuwadde ettaka era tuzze tutambula olugendo luwanvu newankubadde wabaddewo ebitulemesa bingi naye ate minisita Mayanja lwe wabiyingiramu byonna n’obigonjoola”. Gasaasira bwe yagambye.

Ettaka lino lisangibwa Singo block 493 ku square mile ttaano (5) nga kuliko abatuuze 20,000.

Yategeezezza nti balina okusoomozebwa okulala ku ttaka ly’omuluka gw’e Kamuseenene, abatuuze balinga abanaatera okusindiikirizibwa kuba nannyini kyapa ekyo tebannamumalayo ssente nga baagala Gavumenti ebakwatizeeko okumalayo.

Yaloopedde Minista nti waliwo enkaayana z’ettaka ezaabulijjo mu kitundu era beetaaga obuyambi bwa Gavumenti wabula ne yeebaza ekkula lya batuuseeko nti basanyufu bya nsusso olw’okufuna ebyapa bye babadde baloota obuloosi.

Abantu nga baweereddwa ebyapa byabwe

Abantu nga baweereddwa ebyapa byabwe

Ssentebe wa Bwandagi Cell, Gabriel Ssendayi yagambye nti, ettaka lino lyali lya mugenzi Drake Ndiwalana nga yali agabira abatuuze ebibanja okubasimbako kasooli nga buli sizoni bamuwa waakiri ensawo ssatu.

Agamba nti, ensiko bwe yagenda eggwawo, naye yali agonze era n’afa. Yannyonnyodde nti, abatabani baatuuka nga tebakwatagana na bawala b’omugenzi ng’abamu baagala abatuuze bonna balyamuke abala nga baagala bawe obusuulu ensonga ne zituuka mu kkooti.

“Oluvannyuma, twafuna amawulire nti ate ettaka lino liizi yaabwe eweddeko naffe bateekateeka kugizza buggya naffe olwo ne tusala amagezi ng’abatuuze nti waakiri liizi edde muffe”. Ssendayi bwe yagambye.

Ayongerako nti, beekolamu omulimu ne batuukirira minisita Nabakooba naye oluvannyuma eyabaleetera amawulire nti pulezidenti alibawadde tekuba avaako essanyu kata libatte. Yannyonnyodde nti batambudde ekiseera nga baligobako okutuusa leero bwe libaweereddwa mu butongole ne yeebaza Gavumenti.

“Tubadde tulina okusoomozebwa nga tetulinaako wadde ssomero lya Gavumenti n’okutuusa kati naye ke tulifunye ndowooza byonna binaakolebwa”. Ssentebe bwe yagambye.

Amyuka RDC w’e Kassanda, Mike Ssegawa, yeebazizza gavumenti olw’okubawa ebyapa bino kyokka n’asaba abatuuze okukuuma emirembe mu kiseera ky’okulonda era n’abalabula nti anaakola effujjo waakusindikibwa mu kkooti erina obuyinza obuyimbula.

Omubaka wa Bukuya mu Palamenti, Dr. Michael Bukenya Kyabikoola, yategeezezza nti, ekikoleddwa bye ebimu Pulezidenti bye yassa mu manifesto ya NRM eky’okunyweza obwannanyi ku ttaka mu bantu.

Yagambye olufunye ettaka lino, ate Pulezidenti yabawadde ebikolo by’emmwanyi emitwalo 23 n’asaba abatuuze okuzisimba kubanga kati tewakyali abagobaganya.

Minisita yagambye nti abantu babadde tebasobola kwegazaanyiza mu nteekateeka za Gavumenti nga PDM n’emyoga olw’obutabeera na bwannannyini ku bibanja n’agamba nti enkola eno yemu ku bigende okubayambako okubituukiriza.

Yagambye Pulezidenti essira yalissa ku bantu b’ebibanja nabo okufuna ebyapa ebisobola okukola ng’omusingo. Yagambye eky’okugaba ebyapa ku babanja kigenda kweyongera nga Pulezidenti bw’azze alambika era nti ebyapa ebibaweereddwa bya Freehold nga mpaawo agenda ku bakuba ku Mukono.

Yasabye abantu abalina omuze gw’okugobaganya abantu ku ttaka okukikomya kuba amateeka gaakubakolako.

Tags: