POLIISI mu kibuga ky'e Mubende, ekoze ekikwekweto n'ewanulayo bendera ezigambibwa okutimbibwa mu bifo ebizivvoola.
Kigambibwa nti mu bifo mwe baazisanze, mulimu mwe batundira ennyama y'embizzi, kaabuyonjo, bbaala, emiti gy'amasannyalaze n'egyamasimu, n'ebifo nga loogi.
Kino kiddiridde omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, okulabula Bannayuganda ku nkozesa ya bendera era n'annyonnyola etteeka lya 'National Flag and other armorial ensigns Act' erirambika enkoze yaazo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lemark Kigozi, ategeezezza nti kino, bakikoze mu kaweefube w'okukuuma ekitiibwa ky'eggwanga.