KYADDAAKI poliisi e Mukono empondoose n'eteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti ekyayisibwa emyaka ebiri emabega ekiyimiriza munnamagye Maj Mark Wanyama ne banne okuli; Francis Tyaba, Joyce Lutaaya obutaddamu kusaalimbira ku ttaka lino erigambibwa okuba ery'omusubuzi w'e Mukono, Jackson Twinamasiko.
Ettaka lino lisangimbwa ku kizinga kye Mbeeya mu ggombolola ye Mpunge mu district ye Mukono nga liwerako yiika musanvu nga liri ku block 494 plot 9 era ng'ekiragiro kino kisomeddwa atwala poliisi ye Katosi ASP Peter Muhire ng'abadde akulembeddaa akulira ekitongole Kya CI Ali Katende n'abapoliiisi abarala wakati mu bukumi era nga bakulembeze saako n'abatuuze babaddewo.
Munnamagye Maj Mark Wanyama.
Jackson Twinamasiko eyeemulugunya
Ekiragiro kino kyafulumizibwa kkooti eno ne kissibwako omukono amyuka omuwandiisi wa kkooti eno nga 3/12/2021 oluvannyuma lw'omusubuzi Jackson Twinamasiko okuddukirayo nga yeekubira enduulu ku Francis Tyaba n'omukyala Joyce Lutaaya eyaweebwa obuyinza ku ttaaka lino ( Powers of Attorney).
Ekiragiro kino kyalagira Tyaba, abawereza be, ababaka be, abakozi oba omuntu yenna akaayanira ettaka obutagezaako kutunda, okukozesa, okukyusa, okusalaasalamu oba ekintu kyonna ekireetera okutataaganya ettaka lino eryogerwako okutuusa ng'emisango egiri mu kkooti Enkulu nga giwedde.
Atwala Poliisi Y'e Katosi Asp Peter Muhire Ng'alaga Abatuuze Saako N'abakulembeze Ekiwandiiko Kya Kkooti.
Ekiragiro kye kimu kino kiragira Jackson Twinamasiko okusigala ku ttaka eryo okutuusa ng'emisango egiri mu kkooti giwedde, wabula kinajjukirwa nti ng'omwaka oguwedde guggwaako, munnamagye Maj Mark Wanyama yakwata Twinamasiko n'amutwala mu kkooti ento e Mukono ng'amuvunaana kusemberera ttaka lino.
Wabula omulamuzi atwala kkooti ento e Mukono Roselyn Nsenge omusango yagugoba n'abalagira beesigame kw'egyo egiri mu kkooti Enkulu.'
Ekiragiro Kkooti Kye Yafulumya.
ASP Muhire asabye enjuyi zombi saako n'abatuuze okukuuma emirembe wamu n'okwewala okutwalira amateeka mu ngalo, n'agamba nti alina kye yeemulugunya oba ky'atategedde waddembe okuddukira mu kkooti.
Wabula ye munnamagye Maj Mark Wanyama agaanye okubaako ky'ayogera ku nsonga eno.