Abaana 468 abali wakati w'emyaka 5 okutuuka ku 17, be baafiira mu bubenje obwagwawo mu mwaka gwa 2024.
Ate mu mwaka gwa 2025, abaana abaafa, baali 448 okusinziira ku alipoota za poliisi ezizze zifulumizibwa.
Kigambibwa nti abamu baabakoonera mu makubo nga basala, abalala baava ku ppikipiki ne bagwa, abalala mu bubenje bwa mmotoka ezaatomerwa n'abandi abaali basomera ku masomero agali okumpi n'amakubo agaali gaakakolebwa.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, ategeezezza nti mu kiseera kino, bakyagenda mu maaso n'okusomesa abayizi, engeri y'okweyambisa enguudo , abazadde okwongera okuyamba abaana nga basala enguudo, okubafunira ebikoofiira nga bali ku pikipiki n'ebirala.
Asabye abavuzi b'ebidduka okwongera okubeera abeegendereza ate n'asaba abazadde okwewala okuwaayo abaana ku pikipiki nga tebasobola kunywererako nga babadde babavuga.