OMUWALA omulala agambibwa okwekobaana n'abalala okutta eyali omuzannyi wa Rugby, Sydney Gongodyo asindikiddwa Luzira bw’asomeddwa omusango gw'obutemu.
Monica Athieno 24, omutuuze mu zzooni y'e Bbiina e Nakawa awezeza omuwendo gw'abantu mukaaga ku musango gw’abagambibwa okutta omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo bw’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Edgar Karakire ku Cityhall mu Kampala.

Sydney bwe yali afaanana.
Abalala kuliko, Ellen Mondoni 33, atambuza eddagala ku Medicinal Pharmacy omutuuze w'e Luzira ne Joseph Owino 30, Henry Kabugo 21 muvuzi wa Boda nga bombi batuuze e Bukoto, Jethero Murishid Rugaba 33 mutuuze wa Nsimbiziwoome n'abalala nga bakyanoonyezebwa ku musango guno.
Omuwaabi wa Gavumenti Grace Miriam Akite ategeezeza nti okunonyereza nga kukyagenda mu maaso ku musango guno Athieno asobola okusaba okumweyimirira mu kkooti enkulu.

Athieno eyasibiddwa.
Gongodyo okuttibwa baamulowooleza okusika akasawo k'omukyala kwe kumukuba bubi nnyo nga bakozesa ebissi omuli; amayinja n'ebiti ekyamuviirako okufa ng’atwalibwa mu ddwaliro e Mulago.
Ono yali muzannyi mu kiraabu ya Rugby owa Stanbic Black Pirates ng’azannyira ne ku ttimu y'eggwanga eya Rugby Cranes