POLIISI e Mubende, ekoze ekikwekweto mu kabuga k'e Nabingoola ne bayoola abantu 13 abagambibwa okuba ab’omutawaana mu kubba, okukuba n'okutulugunya abantu.
Kikoleddwa mu bifo omuli Nabingoola A, B, Central, Kibaale, Lwesama ne Kyetume era kigambibwa nti bano, basangiddwa n'enjaga n'ebiragalalagala ebiwerako.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti kiddiridde obubbi obubadde bususse ng'abatuuze beemulugunya.