OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, akakasizza ng'abamu ku bakulira ebitongole by'obwannakyewa { Civil Society organisations } , bwe baabayise ku poliisi, okubaako bye bababuuza.
Ategeezezza nti, baamaze okubawereeza amabaluwa agabayita , nga kati babalindiridde okweyanjula ku kitebe kya poliisi ekibuuliriza ku buzzi bw'e misango.
Wabula Kituuma talambuludde mannya gaabo be beetaaga n'ebitongole bye bakoleramu, n'asuubiza nti ekiseera nga kituuse, baakubaasanguza.