ABASUUBUZI baggadde amaduuka ne beekalakaasa nga balumiriza maneja ku kizimbe m ky’Abayindi kwe bapangisa okwekobaana nabo ne babongeza ssente n’okubanyigiriza babalemese emirimu.
Obunyiivu bwabwe baabulaze ggulo bwe beekozeemu omulimu ne baggala amaduuka
ku kizimbe ekiyitibwa The Arcade ku Luwum Street. Ekizmbe kino nga kisinga
kukolerako bakyala, baaguze firimbi obwedda ze bafuuwa nga bwe bawogganira aggulu nti bababba. Abaserikale b’ekitongole ky’obwannannyini abakuuma
ku kizimbe baagezezzaako okubakkakkanya naye ne balemererwa. Maneja ku kizimbe kino Enock Kigozi gwe balumiriza nti yeekobaana n’Abayindi ne babongeza
ssente, yazze n’abaserikale ba poliisi ng’abatambulira wakati bamukuuma kyokka bwe
baatuuse mu basuubuzi ate ne basaanuuka. Baamulangidde okubalemesa okusisinkana
Abayindi babannyonnyole ebizibu ebiri ku kizimbe kyokka n’akalambira ku kubongeza
ssente.
Omu ku basuubuzi, Florence Muwanguzi yategeezezza nti bamaze ebbanga nga balaajanira maneja Enock abasalire ku ssente oba okubatwala ewa bannannyini kizimbe aba kkampuni ya Khoja Shia Ithana SheriJamaat naye n’agaana. Baategeezezza nti buli
mwaka babongeza ssente ebitundu 5 ku buli 100 ate nga ekizimbe tekikola n’embeera
mwe bakolera mbi.
“Ekizimbe kitonnya n’amasannyalaze gavaako buli kiseera ate buli bwe
twogera tetuwulirizibwa,” Muwanguzi bwe yagambye. Ekizimbe kino ekisinga
okukolerako abakyala era obwedda bajuliza nti singa kubaddeko abaami olutalo baalibadde balulwanye bulungi.
Omu ku basajja abatonoabakolerako bwe yayagadde okunnyonnyola poliisi yamukwatiddewo n’emuggalira.
Abakyala baagezezzaako okunnyonnyola n’okutaasa munnaabwe naye ne balemererwa.
Oluvannyumamaneja Enock yatutte abasuubuzi ne poliisi mu ofi isi ye
n’abannyonnyola nti ye talina nsobi. Yabagambye nti abeemulugunya yabongeddeko
kitono ssente . Yawadde ekyokulabirako nti edduuka D13 lisasula 966,000/- nti ntono nnyo era bwatunuulira ze yamwongeddeko ziwera 49,800 /- zokka.
Yagambye nti abalala yabongedeko 60,000/-. Wabula wadde yannyonnyodde abamu ku basuubuzi, abaabadde beekalakaasa baabigaanye ne bategeeza nti baagala kusisinkana bannannyini kizimbe. Bakkiriziganyizza nti bagenda kusisinkana nnannyini kizimbe
bateese kyokka nti embeera yaakyo esusse obubi ; kitonnya, amasannyalaze gavaako ate abongeza buli kiseera.