Abasirikale bekitongole ekikessi mu Poliisi ye Bulenga, ekiro bakimazeeko bagobagana n'abbabbi abateeberezebwa okubba ente okuva mu bitundu bye Mityana, nga zino babadde bazipakidde mu mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAU 758N.

Ente ababbi ze baapakidde mu mmotoka
Ababbi bano abasirkale babasaliddeko mu bitundu bye Bulenga, nga bavuze nebakwata ku Northern Bypass okutuukira ddala e Masanafu nebakwata ku lwe Ssentema,
Bano boolekedde e Ganda kyokka emmotoka yabalemeredde neyesolossa mu luwonko, Poliisi yagenze okugituukako ng'abaagibaddemu baamazeemu dda omusubi, nebalekamu ente bbiri ze babadde bapakiddemu.
Bano beegattiddwako abasirikale okuva ku poliisi ye Ganda nebasiitaana okuggya emmotoka mu luwonko, nga kibatwalidde ebbanga okuggya ente mu mmotoka mwezaabadde zipakiddwa.
Mu mmotoka mwasangiddwamu ejjambiya ezaakozeseddwa okutemako ente amayembe zisobole okugya mu mmotoka, abatuuze beewunyizza engeri ababbi bano gyebaapakiddemu ente zino.

Abasirikale n'abantu nga basika ente okuva mu mmotoka ababbi mwe baazipakidde
Akulira eby'okwerinda ku kyalo Ganda Muyimbwa Christopher, alambuludde ku ngeri gyebaagudde mu buufu bw'ababbi bano, asabye abalunzi okubeera obulindaala wakati nga twolekera ennaku enkulu, kuba mu biseera bino bakyaalakimpadde beegiriisizaamu asabye n'abebyokwerinda okwongera ku bukuumi
Abatuuze balaze okutya olw'ababbi b'ebisolo abeefudde mukoko, beebazizza Poliisi olw'omulimu gwekoze wabula nebasaba bongerwe ku bukuumi kuba tebakyebaka.
Balajaanidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Afande Abas Byakagaba, okwongera amaanyi mu kwaza mmotoka naddala ezitambula ekiro, kuba singa mmotoka eno yazze eyazibwa ababbi bano bandikwatiddwa.