Amawulire

Poliisi  ekyayigga abatemu abasse abantu basatu e Kyegegwa.

Ettemu lyabadde Ku kyalo Karokalungi mu muluka gw'e Kyamagaba mu ggombolola y'e Nkanja e Kyegegwa, bwe basse Christine Kansiime 28 , ne muwala we ow'omwaka ogumu n'emyezi esatu  Miracle wamu ne Joana 19 omukozi w'awaka .

Poliisi  ekyayigga abatemu abasse abantu basatu e Kyegegwa.
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi  ekyagenda mu maaso n'okuyigga abatemu abasse abantu basatu e Kyegegwa.

Ettemu lyabadde Ku kyalo Karokalungi mu muluka gw'e Kyamagaba mu ggombolola y'e Nkanja e Kyegegwa, bwe basse Christine Kansiime 28 , ne muwala we ow'omwaka ogumu n'emyezi esatu  Miracle wamu ne Joana 19 omukozi w'awaka .

Emirambo, gizuuliddwa muliraanwa abadde akyaddeko mu maka era yatemezza ku poliisi y'e Kyaka 2 .

Baatutte embwa ebatuusizza mu lukuubo ku kyalo Ndolobwire gye baasanze engoye z'omu ku bagenzi era n'ebatuusa ewa Tonesiti Bageza engoye endala gye baazisanze.

Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori West , Vicent Twesige, agambye nti baliko abantu basatu abaakwatiddwa, bayambeko mu kunoonyereza.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Kyegegwa
Poliisi
Kutta
Bantu
Batemu
Kuyigga