POLIISI y'e Nakasongola eriko omutuuze gw’ekutte agiyambeko okunoonyereza ku kutemula omukazi ow'abaana omukaaga.
Omulambo gwa Pauline Acca 30, omutuuze ku kyalo Nakayonza mu ggombolola y'e Lwabyata mu disitulikiti ya Nakasongola gwazuuliddwa omulaalo Moses Musaazi eyabadde ku ttale ng'alunda enteze n'atemya ku boobuyinza omwabadde ne poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti beekebezze ekifo nga bali n'embwa ekonga olusu ne babaako gwe baakutte okubayambako mu kunoonyereza.
Yagambye nti omulambo ogwabadde gwegalise gwasangidwako ekiwundu ku mutwe nga n'akawale k'omunda kali ku mabbali
Omugenzi kigambibwa nti yaliko mukyala w'eyaloopye omusango ku poliisi kyokka ne baawukana ng'amuzaddemu abaana musanvu.
Omulambo gwatwaliddwa ku ddwaliro e Nakasongola okwongera okwekebejjebwa.