Omukozi mu kantiini y'essomero agambibwa okukuba omuyizi w'essomero ejjinja n'afa, poliisi emukutte.
Bibadde ku ssomero lya Bright Way Secondary mu Kyamasansa mu disitulikiti y'e Kassanda , Resty Namutebi gy'agambibwa okukuba Ronald Semiyingo 20, omuyizi mu siniya eyookusatu ejjinja, n'afiira mu ddwaaliro.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti Namutebi yabaddeko omuyizi gwe yafunye naye obutakkaanya nti bwe yamukasukidde ejjinja n'alyewoma ne likuba Semiyingo nti kwe kumuddusa mu ddwaaliro lya Red Rose Hospital n'afa nga yaakatuusibwayo.