Poliisi ekutte abazadde abagambibwa nti baludde nga bakuumira omwana ow'emyaka ebiri ku miguwa ng'embuzi, obutamuwa mmere n'okumutulugunya.
Bibadde ku kyalo Mbalala mu Ggombolola y'e Kikandwa mu disitulikiti ey'e Mityana.
Abakwatiddwa, kuliko kitaawe w'omwana Vincent Sekawaya ne nnyina omuto ( mukakitaawe) Mariam Mirembe nga babalumiriza okwenyigira mu bikolwa eby'okutulugunya ebujje
Kigambibwa nti bano, baaloopeddwa ssentebe wa LC 1 Vianny Wamala ku poliisi e Busunju ne bakwata abazadde n'okutaasa omwana.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, ategeezezza nti omwana kiteeberezebwa nti babadde era bamukuba.